10Ekibuga kisigadde kyangaala!Abantu bonna emitima gibeewanise, emibiri gibakankana,amaviivi gabakubagana, basiiwuuse ne mu maaso.
10
11Eri ludda wa empuku yʼempologoma,ekifo we ziriisiza empologoma zaazo ento,empologoma ensajja, nʼenkazi,nʼento we zaatambuliranga nga tewali kizikanga?
12Empologoma ensajja yayigganga ennyama yʼabaana ebamala,nʼenkazi nʼezittira eyaazo,nʼejjuza empuku nʼomuyiggo,ne mu bisulo ne mujjula ennyama;
12
13“Laba nze Mukama owʼEggyenkwolekedde,era ndyokya amagaali go gonna ne ganyooka,nʼekitala kirizikiriza empologoma zo ento.Era tolifuna munyago mulala nate ku nsi,nʼeddoboozi lyʼababaka boteririddayo kuwulirwa.”