7Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’Abalikikubagiza baliva wa?”
8Ggwe Nineeve ggwʼosinga Tebesi ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyirangʼamazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?Olukomera lwakyo gwali muggaera amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.Ate nga Abapuuti[1] nʼabʼomu Libiya nabo nga bakiyamba.
10Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.Abakungu baakyo baakubirwa obululu,nʼabasajja be abʼamaanyi baasibibwa mu njegere.
16Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammweokusinga emmunyeenye ezʼoku ggulu.Naye ensi baligikaza okufaanana ngʼenzige bwe zimalawo ensine ziryoka zibuuka.
17Abakuumi bammwe bali ngʼenzige,nʼabakungu bammwe ngʼebibinja byʼenzigeezibeera ku bisenge ku lunaku olwʼobutiti.Enjuba bwʼevaayo zibuukane ziraga etamanyiddwa.
17
18Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,nʼabakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.Abantu bo basaasaanira ku nsozinga tewali nʼomu abakuŋŋaanya.