1Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:
2Kanani, omu ku baganda bange, nʼajja nʼabamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu kya Bayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi.
3Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza
4Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda wʼeggulu.
5Ne njogera nti,
6Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kwʼomuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana nʼekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange nʼennyumba ya kitange mwe tuli.
7Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go nʼebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.”
8
9
10Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula nʼamaanyi go amangi era nʼomukono gwo ogwʼamaanyi.
11Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kwʼomuddu wo nʼeri okusaba kwʼabaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso gʼomusajja ono.