Nekkemiya 10:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1Abassaako emikono be bano: Nekkemiya owessaza, mutabani wa Kakaliya; ne Zeddekiya,

2ne Seraya, ne Azaliya, ne Yeremiya,

2

3ne Pasukuli, ne Amaliya, ne Malukiya

3

4ne Kattusi, ne Sebaniya, ne Malluki,

4

5ne Kalimu, ne Meremoosi, ne Obadiya,

5

6ne Danyeri, ne Ginnesoni, ne Baluki

6

7ne Messulamu, ne Abiya, ne Miyamini,

7

8ne Maaziya, ne Birugayi ne Semaaya. Abo be baali bakabona.

8

9Abaleevi baganda baabwe be bano:

9

10Sebaniya, ne Kodiya,

10ne Kerita, ne Peraya, ne Kanani,

11ne Mikka, ne Lekobu, ne Kasabiya,

11

12ne Zakkuli, ne Serebiya, ne Sebaniya,

12

13ne Kodiya, ne Baani ne Beninu.

14Abakulembeze bʼabantu baali Palosi, ne Pakasumowaabu, ne Eramu, ne Zattu, ne Baani,

15ne Bunni, ne Azugaadi, ne Bebayi,

15

16ne Adoniya, ne Biguvaayi, ne Adini,

16

17ne Ateri, ne Keezeekiya, ne Azzuli,

17

18ne Kodiya, ne Kasumu, ne Bezayi,

18

19ne Kalifu, ne Anasosi, ne Nebayi,

19

20ne Magupiyasi, ne Mesullamu, ne Keziri,

20

21ne Mesezaberi, ne Zadooki, ne Yadduwa,

21

22ne Peratiya, ne Kanani, ne Anaya,

22

23ne Koseya, ne Kananiya, ne Kassubu,

23

24ne Kallokesi, ne Piruka, ne Sobeki,

24

25ne Lekumu, ne Kasabuna, ne Maaseya,

25

26ne Akiya, ne Kanani, ne Anani,

26

27ne Malluki, ne Kallimu ne Baana.

28“Abantu abalala bakabona, nʼAbaleevi, nʼabaakuumanga wankaaki, nʼabayimbi, nʼabaweereza bʼomu yeekaalu, nʼabo bonna abeeyawula ku mawanga agaali gabaliraanye olwʼAmateeka ga Katonda, awamu ne bakyala baabwe, ne batabani baabwe bonna ne bawala baabwe bonna; bonna abamanyi era abategeera

29beegatte ku baganda baabwe abakungu balayire okugobereranga Amateeka ga Katonda agaabaweebwa Musa omuddu wa Katonda, nʼokugonderanga, amateeka gonna, nʼebiragiro, byonna ebya Mukama Katonda waffe.”

30 “Tusuubiza obutafumbiza bawala baffe mu bantu abatwetoolodde, newaakubadde okukkiriza batabani baffe okuwasa bawala baabwe.”

31 “Abantu abamawanga agatwetoolodde, bwe banaaleetanga ebyamaguzi oba ebyokulya okubitunda ku lunaku olwa ssabbiiti, tetuubibagulengako ku Ssabbiiti newaakubadde ku lunaku olwatukuzibwa olulala lwonna. Buli mwaka ogwʼomusanvu tetuulimenga ttaka lyaffe, era tunaasonyiwanga be tubanja bonna.”

32 “Tunaatwalanga obuvunaanyizibwa okuwangayo eri Katonda waffe kimu kya kusatu ekya sekeri[14] buli mwaka olwʼobuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe:

33olwʼemigaati egyʼokulaga; olwʼekiweebwayo ekyʼobutta ekya buli kiseera, nʼolwʼekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera, nʼolwʼebiweebwayo ebya Ssabbiiti, nʼebyʼembaga yʼomwezi ogwakaboneka, nʼembaga ezaateekebwawo nʼolwʼebintu ebyatukuzibwa; nʼolwʼebiweebwayo olwʼekibi okutangiririra Isirayiri; nʼolwʼemirimu gyonna egyʼomu nnyumba ya Katonda waffe.”

34“Ffe bakabona, nʼAbaleevi, nʼabantu twekubidde obululu okumanya ebiseera ennyumba zaffe mwe zinaaleeteranga enku mu nnyumba ya Katonda waffe, okwakanga mu kyoto kya Mukama Katonda waffe nga kyaka buli mwaka, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka.”

35 “Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.”

36 “Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, nʼennyana ennume ezisooka ezʼente zaffe, nʼennyana zʼamagana gaffe, nʼezʼebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.”

37 “Tunaaleetanga mu mawanika gʼennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu ekyʼekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu ebyʼekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira.

38 Kabona, owʼomu lulyo lwa Alooni, yanaawerekeranga abaleevi, bwe banaabanga bagenze okukima ebitundu ebyʼekkumi, era Abaleevi banaaleetanga kimu kya kkumi ku bitundu ebyʼekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge, mu mawanika.[15]

39Abantu ba Isirayiri okwo nga kwʼotadde nʼAbaleevi, banaaleetanga ebirabo byabwe ebyʼemmere eyʼempeke, ne wayini omuggya, nʼomuzigo mu mawanika, ebintu ebyʼomu kifo ekitukuvu gye biterekebwa, era bakabona abaweereza, nʼabakuuma wankaaki nʼabayimbi gye babeera.”

39“Tetuulagajjalirenga nnyumba ya Katonda waffe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>