Nekkemiya 11:1-36 LGCB2014 - Bible AI

1Abakulembeze bʼabantu ne babeeranga mu Yerusaalemi, abantu abalala ne bakuba akalulu okulonda omuntu omu ku buli bantu kkumi okugenda okubeera mu Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; omwenda bo ne basigala mu byalo byabwe.

2Abantu ne beebaza abo bonna abeewaayo okubeera mu Yerusaalemi.

3 Bano be bakungu bʼamasaza abaasenga mu Yerusaalemi: Abayisirayiri abamu, nga mwe muli bakabona nʼAbaleevi, nʼabaweereza abʼomu yeekaalu, ne bazzukulu ba baddu ba Sulemaani; buli omu yabeeranga ku ttaka lye mu kibanja kye.

4Mu Yerusaalemi mwabeerangamu abamu ku bazzukulu ba Yuda, nʼabamu ku bantu abaava mu Benyamini. Ataya mutabani wa Uzziya, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Sefatiya, muzzukulu wa Makalaleri, owʼomu lulyo lwa Pereezi;

4Bazzukulu ba Yuda abaasenga eyo be bano:

5ne Maaseya mutabani wa Baluki, muzzukulu wa Kolukoze, muzzukulu wa Kazaya, muzzukulu wa Adaya, muzzukulu wa Yoyalibu, muzzukulu wa Zekkaliya, owʼomu lulyo lwa Siiro.

6Bazzukulu ba Pereezi abaasenga mu Yerusaalemi baawerera ddala abasajja ebikumi bina mu nkaaga mu munaana (468), abaali abalwanyi abazira.

7Bazzukulu ba Benyamini abaasenga eyo be bano: Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Yowedi, muzzukulu wa Pedaya, muzzukulu wa Kolaya, muzzukulu wa Maaseya, muzzukulu wa Isiyeri, muzzukulu wa Yesaya;

8nʼabagoberezi be Gabbayi ne Sallayi, bonna ne bawera abasajja lwenda mu abiri mu munaana (928).

9Yoweeri mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe, ne Yuda mutabani wa Kassenuwa nga ye mukulu wʼEkitundu Ekyokubiri ekyʼekibuga.

10Bakabona baali: Yedaya mutabani wa Yoyalibu, ne Yakini,

11ne Seraya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akitubu, alabirira ennyumba ya Katonda,

12ne baganda baabwe abaakolanga emirimu mu yeekaalu, be basajja lunaana mu abiri mu babiri (822); Adaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Peraliya, muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Zekkaliya, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya,

13ne baganda be, abaali abakulu bʼennyumba; abasajja ebikumi bibiri mu ana mu babiri (242); Amasusaayi mutabani wa Azaleri, muzzukulu wa Azayi, muzzukulu wa Mesiremoosi, muzzukulu wa Immeri,

14ne baganda be, abaali abalwanyi abazira; abasajja kikumi mu abiri mu munaana (128). Omukulu waabwe ye yali Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu.

15Abaleevi baali: Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Bunni;

16Sabbesayi ne Yozabadi, abakulu bʼAbaleevi, abaavunaanyizibwanga emirimu egyʼebweru egyʼennyumba ya Katonda;

17Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zabudi muzzukulu wa Asafu, eyakulemberanga okwebaza mu kiseera ekyʼokusaba; Bakubukiya omumyuka we mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa, muzzukulu wa Galali, ate muzzukulu wa Yedusuni.

18Abaleevi abaabeeranga mu kibuga ekitukuvu bonna awamu, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana (284).

19Abakuumi bʼemiryango baali: Akkubu, ne Talumoni ne baganda baabwe; abaakuumanga emiryango nga bawera abasajja kikumi mu nsanvu mu babiri (172).

20Abayisirayiri abalala bonna, awamu ne bakabona, nʼAbaleevi, baabeeranga mu byalo byonna ebya Yuda, buli muntu ngʼali ku butaka bwe.

21Naye abaweereza ba yeekaalu baabeeranga ku lusozi Oferi, era Zika ne Gisupa be baali abakulu baabwe.

22Omukulu wʼAbaleevi mu Yerusaalemi yali Uzzi mutabani wa Baani, muzzukulu wa Kasabiya, muzzukulu wa Mattaniya, era muzzukulu wa Mikka. Ate era Uzzi yali omu ku bazzukulu ba Asafu, abaakulemberanga okuyimba mu nnyumba ya Katonda.

23 Abayimbi baakoleranga ku biragiro bya kabaka, nga buli lunaku bwe lwetaaganga.

24Pesakiya mutabani wa Mesezaberi, omu ku bazzukulu ba Zeera mutabani wa Yuda, ye yali omusigire wa Kabaka, ku nsonga zonna ezʼabantu.

25 Abantu abamu aba Yuda baabeeranga mu Kirasualuba nʼebyalo ebikyetoolodde, nʼabalala mu Diboni nʼebyalo ebikyetoolodde, nʼabalala mu Yekabuzeeri nʼebyalo ebikyetoolodde,

26nʼabalala mu Yesuwa, nʼabalala mu Molada nʼabalala mu Besupereti,

27nʼabalala mu Kazalusuali, nʼabalala mu Beeruseba nʼebyalo ebikyetoolodde,

28nʼabalala mu Zikulagi, nʼabalala mu Mekona nʼebyalo ebikyetoolodde

29nʼabalala mu Enulimmoni, nʼabalala mu Zola, nʼabalala mu Yalamusi,

30 nʼabalala mu Zonowa, nʼabalala mu Adulamu nʼebyalo ebikyetoolodde, nʼabalala mu Lakisi nʼennimiro ezikyetoolodde, nʼabalala mu Azeka nʼebyalo ebikyetoolodde. Ne basiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.

31Bazzukulu ba Benyamini abaava e Geba baabeeranga mu Mikumasi, ne mu Ayiya, ne mu Beseri nʼebyalo ebikyetoolodde,

32ne mu Anasosi, ne mu Nobu, ne mu Ananiya,

33ne mu Kazoli, ne mu Laama, ne mu Gittayimu,

34ne mu Kadidi, ne mu Zeboyimu, ne mu Neballati,

35ne mu Loodi ne mu Ono, ne mu kiwonvu kya babumbi.

36Abamu ku bʼomu bibinja byʼAbaleevi aba Yuda, ne beegatta ku bʼomu Benyamini.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>