1Bano be bakabona nʼAbaleevi abaakomawo ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa:
2
3
4
5
6
7
8Abaleevi baali: Yesuwa, ne Binnuyi, ne Kadumyeri, ne Serebiya, ne Yuda ne Mattaniya awamu ne baganda be, abaakulemberanga ennyimba ezʼokwebaza mu kusinza.
9Bakubukiya ne Unni ne baganda baabwe bo, baayimiriranga nga baboolekedde mu biseera ebyʼokusinza.
10Yesuwa yali kitaawe wa Yoyakimu, ate Yoyakimu nga ye kitaawe wa Eriyasibu, ne Eriyasibu nga ye kitaawe wa Yoyaada,
11Yoyaada nga ye kitaawe wa Yonasaani, ate Yonasaani nga ye kitaawe wa Yadduwa.
12Mu biro bya Yoyakimu, bano be baali abakulu bʼennyumba za bakabona:
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22Abakulu bʼennyumba zʼAbaleevi abaakola mu biro bya Eriyasibu, ne Yoyada, ne Yokanaani ne Yadduwa, awamu ne bakabona, baawandiikibwa mu mirembe gya Daliyo Omuperusi.
23Abakulu bʼenju abaava mu bazzukulu ba Leevi okutuuka ku mulembe gwa Yokanaani mutabani wa Eriyasibu, ne bawandiikibwa mu bitabo ebyʼebyafaayo.
24Abakulembeze bʼAbaleevi baali: Kasabiya, ne Serebiya, ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri, nʼabaabayambangako nga baboolekedde, nga batendereza era nga beebaza, ngʼekibinja ekimu kiddamu ekirala kye biyimba, nga Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
25Mattaniya, ne Bakubukiya, ne Obadiya, ne Mesullamu, ne Talumoni, ne Akkubu be baakuumanga amawanika gʼoku miryango.
26Baaweerereza mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa, mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi.
27Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba nʼokukuba ebitaasa nʼentongooli nʼennanga.
28Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo byʼAbanetofa,
29nʼokuva mu Besugirugaali, nʼokuva mu bitundu byʼe Geba nʼe Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi.
30Bakabona nʼAbaleevi bwe baamala okwetukuza olwʼemikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, nʼemiryango ne bbugwe.
31Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira nʼebibinja bibiri ebyʼabayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, nʼekirala ne kiraga ku Mulyango gwʼObusa.
32Kosaaya ne kimu kyakubiri ekyʼabakulembeze ba Yuda ne babagoberera,
33nga bali wamu ne Azaliya, ne Ezera, ne Mesullamu,
34ne Yuda, ne Benyamini, ne Semaaya, ne Yeremiya,
35ne bakabona abamu nga bakutte amakondeere, ne Zekkaliya mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Semaaya, muzzukulu wa Mikaaya, muzzukulu wa Zakkuli, muzzukulu wa Asafu;
36ne banne abaamuyambangako nga be bano: Semaaya, ne Azuleeri, ne Miralayi, ne Giralayi, ne Maayi, ne Nesaneeri, ne Yuda, ne Kanani, nga balina ebivuga ebyalagirwa Dawudi omusajja wa Katonda, era Ezera omuwandiisi, ye yabakulemberangamu.
37Bwe baatuuka ku Mulyango gwʼOluzzi, ne bambuka amadaala gʼEkibuga kya Dawudi okutuukira ddala ku bbugwe; ne bayita ku lubiri lwa Dawudi ne batuuka ku Mulyango ogwʼAmazzi, oguli ku luuyi olwʼebuvanjuba.
38Ekibinja ekyokubiri ekyʼabayimbi, ne kiraga ku luuyi olwolekedde luli bali gye baali balaze. Nze ne kimu kyakubiri ekyʼabantu ne tubagoberera okutuukira ddala waggulu ku bbugwe, ne tuyita ku Munaala gwʼEbikoomi ne tutuuka ku Bbugwe Omugazi,
39ne ku Mulyango gwa Efulayimu, ne ku Mulyango gwa Yesana, ne ku Mulyango gwʼEbyennyanja, nʼokutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ne ku Munaala gwʼEkikumi, nʼokutuukira ddala ku Mulyango gwʼEndiga, ne tuyimirira ku Mulyango gwʼAbambowa.
40Ebibinja byombi ebyʼabayimbi ne batuula mu bifo byabwe mu nnyumba ya Katonda; nange ne kimu kyakubiri ekyʼabakulembeze ne tutuula,
41awamu ne bakabona bano: Eriyakimu, ne Maaseya, ne Miniyamini, ne Mikaaya, ne Eriwenayi, ne Zekkaliya, ne Kananiya nga balina amakondeere;
42Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe.
43Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi nʼabaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo ebyʼewala.
44Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona nʼAbaleevi. Yuda baali basanyufu olwʼobuweereza bwa bakabona awamu nʼobwʼAbaleevi.
45
46Mu biro ebyʼedda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu bʼabayimbi, ate nga waliwo nʼennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda.
47