Nekkemiya 13:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1 Ku lunaku olwo, Ekitabo kya Musa ne kisomebwa ngʼabantu bawulira, ne bazuula nga kyawandiikibwa nti tewabanga Omwamoni newaakubadde Omumowaabu akkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Katonda,

2 kubanga tebaayaniriza Bayisirayiri na mmere newaakubadde amazzi, wabula baagulirira Balamu akolimire Abayisirayiri. Kyokka Katonda waffe yafuula ekikolimo okuba omukisa.

3Abantu bwe baawulira etteeka eryo, ne bagoba bannaggwanga bonna mu Isirayiri.

4Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika gʼennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya.

5Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke, nʼomugavu, nʼebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi ekyʼemmere eyʼempeke, ne wayini omuggya, awamu nʼomuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, nʼabayimbi, nʼabakuumi ba wankaaki, nʼebyo ebyaweebwanga bakabona.

6Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogwʼamakumi asatu mu ebiri ogwʼobufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka wʼe Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lwʼebbanga, ne nsaba kabaka,

7ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya zʼennyumba ya Katonda.

8Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge.

9Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, nʼoluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, nʼemmere eyʼempeke, nʼomugavu ne biddizibwamu.

10 Ne ntegeezebwa ngʼemigabo gyʼAbaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga nʼAbaleevi bonna awamu nʼabayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe.

11Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.

12 Yuda yenna ne baleeta ekimu ekyʼekkumi ekyʼemmere eyʼempeke ne wayini omuggya nʼomuzigo, ne babiteeka mu mawanika.

13Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.

14Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olwʼekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, nʼokuweereza kwe naweereza nʼobwesigwa.

15 Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere eyʼempeke awamu ne wayini, nʼemizabbibu, nʼettiini, nʼemigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo.

16Abantu bʼe Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja nʼebyamaguzi ebyʼengeri ezʼenjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.

17Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino ekyʼekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti?

18Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe nʼalyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

19Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti.

20Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi nʼabatundanga ebintu ebyʼengeri zonna baasula ebweru wʼekibuga Yerusaalemi.

21Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti.

22Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.

22Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.

23 Ate era mu nnaku ezo, ne ndaba abasajja ba Yuda abaali bawasizza abakazi okuva mu Asudodi, ne Amoni, ne Mowaabu.

24Kimu kyakubiri ku baana baabwe baali boogera olulimi lwʼAbasudodi, oba olumu ku nnimi zʼabantu abalala.

25Ne mbanenya ne mbakolimira. Ne nkubako abamu ku basajja abo Abayudaaya, ne mbakuunyuulako enviiri. Ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti, “Temuwangayo bawala bammwe kufumbirwa batabani baabwe, wadde bawala baabwe okufumbirwa batabani bammwe, oba mmwe mwennyini.

26 Okufumbiriganwa okwʼengeri eyo, si kwe kwaleetera Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga gonna, tewaali kabaka nga ye. Yali ayagalibwa nnyo Katonda, era Katonda yamufuula kabaka wa Isirayiri yonna, kyokka abakazi bannaggwanga amalala, baamuwabya, nʼakola ebibi.

27Ate tuwulira nga mukoze ebintu bino ebibi bwe bityo. Temuba beesigwa eri Katonda waffe bwe muwasa abakazi bannamawanga.”

28 Omu ku batabani ba Yekoyaada, mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni. Ne mmugoba we ndi.

29Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gwʼobwakabona nʼendagaano yʼobwakabona ne eyʼAbaleevi.

30Ne ntukuza bakabona awamu nʼAbaleevi okuva mu buli kintu kyonna ekitali kitukuvu, buli omu ne mmuwa emirimu egyʼokukola.

31Ne nteekawo enkola eyʼabantu okuwaayo enku mu biseera ebigereke, era nʼebibala ebibereberye.

31Onzijukire nʼokwagala kwo Ayi Katonda wange.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>