1Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogwʼamakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi
2Kabaka nʼambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ngʼomulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obwʼomu mutima.”
3
4Kabaka nʼambuuza nti, “Kiki kyʼoyagala?” Awo ne nsaba eri Katonda wʼeggulu,
5nʼoluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bwʼanasiima, era omuddu wo bwʼanaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.”
6Awo kabaka, ne mukyala we ngʼamuli ku lusegere, nʼambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka nʼasiima okuntuma, ne neegerera ekiseera.
7Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bwʼanaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala wʼomugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda.
8Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi wʼekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ezʼokubajjamu enzigi za yeekaalu, nʼeza wankaaki wa bbugwe wʼekibuga, nʼekifo we nnaabeeranga.” Olwʼomukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka nʼampa bye namusaba.
9Awo ne ndaga eri abaamasaza abaali emitala wʼomugga Fulaati ne mbakwasa ebbaluwa eziva ewa kabaka. Kabaka yampa abakungu bʼeggye nʼabeebagala embalaasi okumperekerako.
10Naye Sanubalaati
11Ne ntuuka e Yerusaalemi, ne mbeerayo ennaku ssatu,
12ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula nʼabamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu nʼomu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda nʼensolo emu yokka gye nnali neebagadde.
13Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogwʼomu Kiwonvu
14Nʼoluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogwʼOluzzi nʼeri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange nʼeteyinza kuyitawo.
15Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogwʼomu Kiwonvu.
16Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, nʼabalala abaali bateekwa okukola omulimu.
17Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.”
18Ne mbategeeza omukono gwa Katonda ogwʼekisa bye gwali gunkoledde, ne kabaka bye yaŋŋamba. Ne baddamu nti, “Tugolokoke tutandike okuzimba.”
19Naye Sanubalaati Omukoloni, ne Tobiya omukungu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batunyooma nʼokutusekerera ne batusekerera. Ne batubuuza nti, “Kiki kye mukola? Mwagala kujeemera kabaka?”
20Ne mbaddamu nti, “Katonda wʼeggulu alituyamba okukituukiriza, era ffe abaddu be tulitandika okuzimba, naye mmwe temulina mugabo newaakubadde obusika newaakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”