1Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu wamu ne baganda be bakabona ne batandika okukola nʼokuddaabiriza Omulyango gwʼEndiga. Ne baguwonga eri Mukama, ne bazzaamu nʼenzigi zaagwo. Ne bakola okutuukira ddala ku Munaala gwe Kikumi, nʼokweyongerayo okutuuka ku Munaala gwa Kananeri, ekifo kyonna ne bakiwonga eri Mukama.
2Abasajja abʼe Yeriko ne bazimba ekitundu ekyaddirira, ne Zakkuli mutabani wa Imuli nʼaddaabiriza ekitundu ekyali kiddiridde.
3Batabani ba Kassena ne bazimba Omulyango ogwʼEbyennyanja, ne bazzaawo emyango nʼenzigi zaagwo, nʼeminyolo nʼebyuma byagwo mu kifo kyabyo.
4Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira; Mesullamu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Mesezaberi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddako ekya Meremoosi. Zadooki mutabani wa Baana nʼaddaabiriza ekitundu ekyali kiriraanyeewo.
5Abasajja Abatekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, naye abakungu baabwe ne bagaana okukolera wansi waabwe.
6Ne Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya ne baddaabiriza Omulyango ogwʼEdda, ne bazaamu emyango nʼenzigi zaagwo, nʼeminyolo nʼebyuma byagwo.
7Ekifo ekyaddirira kyaddaabirizibwa Meratiya Omugibyoni nʼabasajja abʼe Gibyoni ne Yadoni Omumeronoosi nʼabasajja abʼe Mizupa. Ebyo byʼebifo ebyafugibwanga owʼessaza eriri emitala wʼomugga Fulaati.
8Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, omuweesi wa zaabu nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kananiya omukozi wʼobuwoowo, nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira, era abo ne baddaabiririza ddala Yerusaalemi okutuuka ku Bbugwe Omugazi.
9Lefaya mutabani wa Kuuli eyafuganga ekitundu kyʼeggombolola ya Yerusaalemi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
10Ekitundu ekyaddirira kyali kiriraanye ennyumba ya Yedaya mutabani wa Kalunafu, era ekyo kye yaddaabiriza; nʼekitundu ekyaddako Kattusi mutabani wa Kasabuneya nʼakiddaabiriza.
11Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekitundu ekirala ekya bbugwe nʼOmunaala ogwʼEkikoomi.
12Eyaddaabiriza ekitundu ekyaddirira yali Sallumu mutabani wa Kallokesi ne bawala be, eyafuganga ekitundu kyʼeggombolola ya Yerusaalemi ne bawala be.
13Kanuni nʼabatuuze bʼe Zanowa ne baddaabiriza Omulyango ogwʼomu Kiwonvu, ne bazzaamu enzigi zaagwo, nʼeminyolo gyagwo nʼebyuma byagwo mu bifo byabyo; ate era ne baddaabiriza nʼekitundu ekirala ekya bbugwe, olugendo lwa mita nga kikumi obuwanvu, okutuuka ku Mulyango ogwʼObusa.
14Malukiya mutabani wa Lekabu owʼeggombolola yʼe Besukakkeremu nʼaddaabiriza Omulyango ogwʼObusa, nʼazzaamu enzigi zaagwo, nʼeminyolo gyagwo nʼebyuma byagwo mu bifo byabyo.
15Salluni mutabani wa Kolukoze owʼeggombolola yʼe Mizupa nʼaddaabiriza Omulyango ogwʼOluzzi, nʼazzaamu enzigi zaagwo nʼemiryango gyagwo nʼebyuma byagwo. Nʼaddaabiriza nʼekisenge ekyʼEkidiba kya Sera
16Nekkemiya mutabani wa Azubuki eyafuganga ekitundu kyʼeggombolola yʼe Besuzuli
17Abaleevi nga bakulemberwamu Lekumu mutabani wa Baani ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, ne Kasabiya eyafuganga ekitundu kyʼeggombolola lyʼe Keyira nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddako ku lwʼeggombolola ye.
18Baganda baabwe nga bakulemberwamu Bavvayi mutabani wa Kenadadi eyafuganga ekitundu ekyokubiri ekyʼegombolola lyʼe Keyira ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
19Ezeri mutabani wa Yesuwa, omukulembeze wʼe Mizupa nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira, nʼatuuka ku nsonda ya bbugwe, kye kitundu ekyolekedde awaakumirwanga ebyokulwanyisa.
20Baluki mutabani wa Zabbayi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira nʼobunyiikivu bungi, okuva ku nsonda ya bbugwe okutuuka ku mulyango gwʼennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
21Meremoosi mutabani wa Uliya, muzzukulu wa Kakkozi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku mulyango gwʼennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero yaayo.
22Bakabona abʼomu lusenyi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
23Ekitundu ekyaddirira ne kibuukibwa, Benyamini ne Kassubu ne baddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe, Azaliya mutabani wa Maaseya muzzukulu wa Ananiya naye nʼaddaabiriza ekifo ekiriraanye ennyumba ye.
24Binnuyi mutabani wa Kenadadi nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku nsonda ya bbugwe,
25Palali mutabani wa Uzayi nʼaddaabiriza ekitundu kya bbugwe ku nsonda ya bbugwe, ekyolekedde omunaala ogwazimbibwa ku lubiri lwa kabaka olwʼekyengulu okuliraana oluggya lwʼabambowa. Pedaya mutabani wa Palosi
26nʼabakozi ba yeekaalu abaabeeranga ku lusozi Oferi ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira okutuuka ku Mulyango gwʼAmazzi ngʼagenda ebuvanjuba ne ku munaala ogwazimbibwa.
27Abasajja bʼe Tekowa ne baddaabiriza ekitundu ekyaddirira, okuva ku munaala omunene ogwazimbibwa okutuuka ku bbugwe wʼe Oferi.
28Bakabona ne baddaabiriza ekyengulu wʼOmulyango ogwʼEmbalaasi buli muntu okwolekera ennyumba ye.
29Zadooki mutabani wa Immeri nʼaddaabiriza ekifo ekyolekedde ennyumba ye, ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omukuumi wʼomulyango gwʼebuvanjuba nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira.
30Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni mutabani wa Zalafu owʼomukaaga nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira. Mesullamu mutabani wa Berekiya nʼaddaabiriza ekitundu ekyaddirira okwolekera amaka ge.
31Malukiya omu ku baweesi ba zaabu nʼaddaabiriza ekitundu okutuuka ku nnyumba ya baweereza ba yeekaalu, ne ku nnyumba ya basuubuzi okwolekera Omulyango Awaakeberebwanga Ebyamaguzi, nʼokutuuka ku kisenge ekya waggulu ku nsonda.
32Abaweesi ba zaabu nʼabasuubuzi ne baddaabiriza ekitundu ekiri wakati wʼekisenge ekya waggulu ku nsonda nʼOmulyango gwʼEndiga.