Nekkemiya 4:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, nʼanyiiga nnyo era nʼajjula obuswandi. Nʼaduulira Abayudaaya

2mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso gʼeggye lyʼe Samaliya nʼayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu zʼebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”

3Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, nʼayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe owʼamayinja!”

4Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe.

5Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso gʼabazimbi.”

6Awo ne tweyongerayo nʼokuzimba bbugwe okutuuka wakati wʼobugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga nʼobumalirivu.

7Naye Sanubalaati, ne Tobiya, nʼAbawalabu, nʼAbamoni, nʼAbasudodi bwe baawulira ngʼomulimu gwʼokuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise nʼokuziba ebituli, ne banyiiga nnyo.

8Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi nʼokugitabulatabula.

9Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo nʼabakuumi abaakuumanga emisana nʼekiro.

10Mu kiseera kyekimu abantu bʼe Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”

11Nʼabalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”

12Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”

13Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, nʼamafumu nʼemitego nʼobusaale.

14Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, nʼabakulu, nʼabantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era owʼentiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe nʼamaka gammwe.”

15Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.

16Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga nʼekitundu ekirala nga bakutte amafumu, nʼengabo, nʼobusaale nʼebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe.

17Abeetikkanga, baasitulanga nʼomukono gumu ebyʼokuzimbisa nʼomulala ne gukwata ekyokulwanyisa,

18na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ngʼakola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.

19Ne ŋŋamba abakungu nʼabakulu nʼabantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne.

20Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi lyʼekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”

21Ne tweyongerayo nʼomulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga.

22Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu nʼoyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.”

23Tewaali nʼomu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>