Nekkemiya 5:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekibinja kyʼabasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya.

2Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano eyʼokulya okutubeezaawo nga tuli balamu.”

3Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, nʼennimiro zaffe ezʼemizabbibu nʼamaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.”

4Nʼabalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ezʼemizabbibu.

5Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, nʼabaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu nʼennimiro zaffe ezʼemizabbibu.”

6Bwe nawulira okukaaba kwabwe nʼebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo.

7 Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu nʼabafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo,

8ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.

9Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso gʼabalabe baffe, bannamawanga?

10Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi nʼemmere eyʼempeke, naye ekigambo kyʼokuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome.

11Mubaddize leero ebibanja byabwe, nʼennimiro zaabwe ezʼemizabbibu, nʼezʼemizeeyituuni, nʼennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere eyʼempeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.”

12Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bwʼolagidde.” Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu nʼabakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza.

13Ne nkunkumula ne nsawo ezʼekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bwʼatyo ennyumba yʼomuntu oyo, nʼebyʼobugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bwʼasuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bwʼatyo aleme okusigaza ekintu!”

13Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.

14Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza wʼensi ya Yuda, mu mwaka ogwʼamakumi abiri ogwʼobufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogwʼamakumi asatu mu ebiri, gye myaka ekkumi nʼebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba eyʼowessaza.

15Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olwʼokutya Katonda.

16Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze nʼabasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka.

17Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo nʼabakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kwʼotadde nʼabaava mu mawanga agaatuliraananga.

18Buli lunaku ente emu, nʼendiga ensava mukaaga nʼenkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo.

19Nzijukira Ayi Katonda wange, olwʼebyo byonna byenkoledde abantu bano.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>