Nekkemiya 7:1-73 LGCB2014 - Bible AI

1Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga nʼenzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, nʼabayimbi, nʼAbaleevi nga bamaze okulondebwa,

2ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi wʼekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ngʼatya Katonda okusinga abantu abalala bangi.

3Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ngʼomusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo nʼabalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”

4Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga nʼennyumba tezinnaddaabirizibwa.

5Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu nʼabakulembeze, nʼabantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:

6bano be bantu abʼomu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka wʼe Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga kyʼewaabwe.

7Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana.

7Gano gʼEmannya gʼAbasajja ba Isirayiri:

8bazzukulu ba Palosi baali — enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172);

9bazzukulu ba Sefatiya baali — bisatu mu nsavu mu babiri (372);

9

10bazzukulu ba Ala baali — lukaaga mu ataano mu babiri (652);

10

11bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali abʼolunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali — enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818);

11

12bazzukulu ba Eramu baali — lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254);

12

13bazzukulu ba Zattu baali — lunaana mu ana mu bataano (845);

13

14bazzukulu ba Zakkayi baali — lusanvu mu nkaaga (760);

14

15bazzukulu ba Binnuyi baali — lukaaga mu ana mu munaana (648);

15

16bazzukulu ba Bebayi baali — lukaaga mu abiri mu munaana (628);

16

17bazzukulu ba Azugaadi baali — enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322);

17

18bazzukulu ba Adonikamu baali — lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667);

18

19bazzukulu ba Biguvaayi baali — enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067);

19

20bazzukulu ba Adini baali — lukaaga mu ataano mu bataano (655);

20

21bazzukulu ba Ateri owʼolunnyiriri lwa Keezeekiya baali — kyenda mu munaana (98);

21

22bazzukulu ba Kasumu baali — bisatu mu abiri mu munaana (328);

22

23bazzukulu ba Bezayi baali — bisatu mu abiri mu bana (324);

23

24bazzukulu ba Kalifu baali — kikumi mu kumi na babiri (112);

24

25bazzukulu ba Gibyoni baali — kyenda mu bataano (95).

26Abaava e Besirekemu ne Netofa baali — kikumi mu kinaana mu munaana (188);

27abʼe Anasosi baali — kikumi mu abiri mu munaana (128);

27

28abʼe Besuwazumavesi baali — amakumi ana mu babiri (42);

28

29abʼe Kiriyasuyalimu, nʼe Kefira nʼe Beerosi baali — lusanvu mu ana mu basatu (743);

29

30abʼe Laama nʼe Geba — lukaaga mu abiri mu omu (621);

30

31abʼe Mikumasi — kikumi mu abiri mu babiri (122);

31

32abʼe Beseri nʼe Ayi baali — kikumi mu abiri mu basatu (123);

32

33abʼe Nebo ekyokubiri baali — amakumi ataano mu babiri (52);

33

34abʼe Eramu ekyokubiri baali — lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254);

34

35abʼe Kalimu baali — bisatu mu abiri (320);

35

36abʼe Yeriko baali — bisatu mu ana mu bataano (345);

36

37abʼe Loodi, nʼe Kadidi ne Ono baali — lusanvu mu abiri mu omu (721);

37

38nʼabʼe Sena baali — enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).

39Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya owʼolunnyiriri lwa Yesuwa baali — lwenda mu nsavu mu basatu (973);

40bazzukulu ba Immeri baali — lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052);

40

41bazzukulu ba Pasukuli baali — lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247);

41

42bazzukulu ba Kalimu baali — lukumi mu kumi na musanvu (1,017);

43Ne bano be Baleevi: — bazzukulu ba Yesuwa owʼolunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali — nsavu mu bana (74);

44Abayimbi, — bazzukulu ba Asafu baali — kikumi mu amakumi ana mu munaana (148).

45Abaakuumanga wankaaki baali: — bazzukulu ba Sallumu, ne bazzukulu ba Ateri, ne bazzukulu ba Talumoni, ne bazzukulu ba Akkubu, ne bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali — kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).

46Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, ne bazzukulu ba Kasufa, ne bazzukulu ba Tabbawoosi,

47ne bazzukulu ba Keriso, ne bazzukulu ba Siya, ne bazzukulu ba Padoni

47

48bazzukulu ba Lebana, ne bazzukulu ba Kagaba, ne bazzukulu ba Samulaayi,

48

49ne bazzukulu ba Kanani, ne bazzukulu ba Gidderu, ne bazzukulu ba Gakali,

49

50ne bazzukulu ba Leyaya, ne bazzukulu ba Lezini, ne bazzukulu ba Nekoda,

50

51bazzukulu ba Gazzamu, ne bazzukulu ba Uzza, ne bazzukulu ba Paseya,

51

52bazzukulu ba Besayi, ne bazzukulu ba Meyunimu, ne bazzukulu ba Nefusesimu,

52

53bazzukulu ba Bakubuki, ne bazzukulu ba Kakufa, ne bazzukulu ba Kalukuli,

53

54ne bazzukulu ba Bazulisi, ne bazzukulu ba Mekida, ne bazzukulu ba Kalusa,

54

55ne bazzukulu ba Balukosi, ne bazzukulu ba Sisera, ne bazzukulu ba Tema,

55

56ne bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.

57Bazzukulu bʼabaweereza ba Sulemaani be bano: bazzukulu ba Sotayi, ne bazzukulu ba Soferesi, ne bazzukulu ba Perida,

58ne bazzukulu ba Yaala, ne bazzukulu ba Dalukoni, ne bazzukulu ba Gidderi,

58

59ne bazzukulu ba Sefatiya, ne bazzukulu ba Kattiri,

59ne bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu ne bazzukulu ba Amoni.

60Omuwendo gwʼabaaweerezanga mu yeekaalu bonna ne bazzukulu ba baweereza ba Sulemaani awamu baali — bisatu mu kyenda mu babiri (392).

61Bano wammanga be baava mu bibuga ebyʼe Temmeera, nʼe Terukalusa, nʼe Kerubu, nʼe Yaddoni, nʼe Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:

62bazzukulu ba — Deraya, ne bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali — lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642).

63Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, ne bazzukulu ba Kakkozi ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era nʼatuumibwa erinnya eryo.

64Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.

65 Era owessaza nʼabagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.

66Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),

67obutassaako baweereza baabwe abasajja nʼabaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina nʼabayimbi abasajja nʼabakazi bibiri mu ana mu bataano (245).

68 Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245),

69nʼeŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), nʼendogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).

70Abamu ku bakulu bʼobusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana nʼawaayo, kilo munaana nʼekitundu eza zaabu, nʼebbensani amakumi ataano (50), nʼebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika.

71Abamu ku bakulu bʼobusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu nʼobutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olwʼomulimu ogwali gukolebwa.

72Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu nʼakatundu kamu aka ffeeza, nʼebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.

73 Awo bakabona, nʼAbaleevi, nʼabaakuumanga wankaaki, nʼabayimbi, nʼabamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>