Nekkemiya 8:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwezi ogwʼomusanvu, abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso gʼOmulyango gwʼAmazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo kyʼAmateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.

2Ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼomusanvu, Ezera kabona nʼaleeta Ekitabo kyʼAmateeka mu maaso gʼekibiina ekyalimu abasajja nʼabakazi nʼabalala abaali basobola okutegeera.

3Nʼakisomera mu kifo ekigazi mu maaso gʼOmulyango gwʼAmazzi mu ddoboozi eryʼomwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ezʼomu tuntu, mu maaso gʼabasajja nʼabakazi nʼabalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo kyʼAmateeka.

4Ezera omuwandiisi nʼayimirira ku kituuti ekyʼembaawo kye baazimbira omukolo ogwo. Mattisiya, ne Sema, ne Anaya, ne Uliya, ne Kirukiya ne Maaseya be baamuliraana ku mukono gwe ogwa ddyo, ate Pedaya, ne Misayeri, ne Malukiya, ne Kasimu, ne Kasubaddana, ne Zekkaliya ne Mesullamu be baamuliraana ku mukono gwe ogwa kkono.

5Awo Ezera nʼabikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu wʼabantu bonna, era bwe yali ngʼayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira.

6Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.

7Yesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe.

8Ne basoma mu Kitabo kyʼAmateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.

9Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, nʼAbaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”

10Nekkemiya nʼabagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe nʼebiwoomerera, muweerezeeko nʼabo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”

11Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”

12Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu gʼebigambo ebyabategeezebwa.

13Ku lunaku olwokubiri olwʼomwezi ogwo, abakulu bʼennyumba awamu ne bakabona nʼAbaleevi, ne bakuŋŋaanira eri Ezera omuwandiisi okusoma nʼokutegeera ebigambo byʼAmateeka.

14 Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera ebyʼembaga eyʼomwezi ogwʼomusanvu,

15 era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago nʼokulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi agʼemizeeyituuni nʼago agʼemizeeyituuni egyʼomu nsiko, nʼagʼemikadasi,[11] nʼagʼenkindu, nʼagʼemiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”

16Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lwʼennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwʼAmazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu.

17Awo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa[12] mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.

18Buli lunaku, Ezera nʼasomanga mu Kitabo kyʼAmateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olwʼomunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ngʼekiragiro bwe kiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>