Nekkemiya 9:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya mu mwezi gwe gumu, Abayisirayiri ne bakuŋŋaana ne basiiba, nga bambadde ebibukutu era nga beesiize enfuufu ku mitwe gyabwe.

2Abʼezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bannamawanga bonna, ne bayimirira mu bifo byabwe ne baatula ebibi byabwe nʼobutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.

3Ne bayimirira we baali ne basoma mu Kitabo kyʼAmateeka ga Mukama Katonda waabwe, okumala essaawa ssatu, nʼoluvannyuma ne baatula era ne basinza Mukama Katonda waabwe okumala essaawa endala nga ssatu.

4Bano be Baleevi abaali bayimiridde ku madaala: Yesuwa, ne Baani, ne Kadumyeri, ne Sebaniya, ne Bunni, ne Serebiya, ne Baani ne Kenani, abaakoowoolanga Mukama Katonda waabwe mu ddoboozi eryʼomwanguka.

5Awo Abaleevi, Yesuwa, ne Kadumyeri, ne Baani, ne Kasabuneya, ne Serebiya, ne Kodiya, ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti, “Muyimirire, mwebaze Mukama Katonda wammwe owʼemirembe nʼemirembe.

5Erinnya lyo ligulumizibwe, litiibwe era ligulumizibwe okukira okusinza kwonna nʼokutendereza kwonna.

6Ggwe wekka, ggwe Mukama, era ggwe wakola eggulu, nʼeggulu erya waggulu, nʼeggye lyalyo lyonna, nʼensi nʼebigirimu byonna, nʼennyanja nʼebigirimu byonna. Buli kintu gwʼokiwa obulamu, era nʼeggye eryʼomu ggulu likusinza.”

7 “Ggwe Mukama Katonda, eyalonda Ibulaamu nʼomuggya mu Uli ekyʼAbakaludaaya nʼomutuuma Ibulayimu.

8 Walaba omutima gwe nga mwesigwa gyʼoli, nʼokola naye endagaano, okuwa bazzukulu be ensi eyʼAbakanani, nʼAbakiiti, nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbayebusi, nʼAbagirugaasi; era otuukiriza ekyo kye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.”

9 “Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri, nʼowulira okukaaba kwabwe ku lubalama lwʼEnnyanja Emyufu.[13]

10 Waweereza obubonero obwewuunyisa nʼebyamagero eri Falaawo, nʼeri abakungu be, nʼeri abantu be bonna abʼensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, nʼokutuusa leero.

11 Wayawula mu mazzi gʼennyanja nʼogalaza ebbali ne bbali mu maaso gaabwe, ne bayita wakati mu yo ku lukalu, naye abaali babagoberera wabazaaya mu buziba, ngʼejjinja bwe likasukibwa mu mazzi agʼamaanyi.

12 Emisana wakulemberanga abantu bo nʼempagi eyʼekire, era nʼekiro wabakulemberanga nʼempagi eyʼomuliro okubamulisiza ekkubo lye baali bateekwa okukwata.”

13 “Wava mu ggulu, nʼokka ku Lusozi Sinaayi nʼoyogera gye bali. Wabawa ebiragiro ebyʼobwenkanya, nʼamateeka agʼamazima, byonna nga birungi.

14Wabamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu, era nʼobawa ebiragiro nʼamateeka ngʼoyita mu muddu wo Musa.

15 Bwe baalumwa enjala wabawa emmere okuva mu ggulu, ne bwe baalumwa ennyonta nʼobawa amazzi okuva mu lwazi; nʼobagamba bagende balye ensi gye wabalayiririra.”

16 “Naye bo bajjajjaffe ne beekulumbaza ne bakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera biragiro byo.

17 Baagaana okukuwuliriza, ne batassaayo mwoyo okujjukira ebyamagero bye wakolera mu bo. Baakakanyaza ensingo zaabwe, era mu bujeemu bwabwe ne balonda omukulembeze okuddayo mu buddu bwabwe. Naye ggwe Katonda asonyiwa, owʼekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala era ajjudde okwagala, tewabaleka.

18 Ne bwe beebumbira ennyana ensanuuse ne boogera nti, ‘Ono ye katonda wammwe eyabaggya mu Misiri,’ ne bakola nʼebitasaana bingi, mu kusaasira kwo okungi tewabaleka mu ddungu.

19 Emisana, empagi eyʼekire teyalekerawo kubaluŋŋamya mu kkubo lyabwe, newaakubadde ekiro, empagi eyʼomuliro nayo teyalekerawo kubaakira mu kkubo lye baali bateekwa okukwata.

20Wabawa Omwoyo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu okulya, era wabawanga nʼamazzi okumalawo ennyonta yaabwe.

21Wabalabirira okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwa kintu, so nʼengoye zaabwe tezaayulika newaakubadde ebigere byabwe okuzimba.”

22 “Wabawa obwakabaka nʼamawanga, nʼobawa na buli nsonda eyʼebyalo. Baalya ensi ya Sikoni kabaka wʼe Kesuboni, nʼensi ya Ogi kabaka wʼe Basani.

23 Wayaza abazzukulu baabwe ne baba bangi ngʼemmunyeenye ezʼomu ggulu, nʼobaleeta mu nsi gye wagamba bajjajjaabwe okuyingira bagirye.

24 Bazzukulu baabwe baayingira ne balya ensi, ne bawangula Abakanani abaabeeranga mu nsi, nʼobawaayo mu mikono gyabwe wamu ne bakabaka baabwe, nʼabantu bʼensi zaabwe ne babakola nga bwe baagala.

25 Baawamba ebibuga ebyaliko bbugwe nʼensi enjimu, ne batwala amayumba agaali gajudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, enzizi ezasimibwa edda, nʼennimiro ezʼemizabbibu, nʼennimiro ezʼemizeyituuni, nʼemiti egyʼebibala mingi nnyo. Baalya ne bakkuta era ne banyirira, nʼokubasanyusa nʼobasanyusanga olwʼobulungi bwo.”

26 “Naye tebaakugondera, baakujeemera ne batagoberera mateeka go. Batta bannabbi bo, abaababuuliriranga okudda gyʼoli; baakola ebitasaana.

27Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, nʼobawulira okuva mu ggulu, nʼolwʼokusaasira kwo okungi ennyo nʼobaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gwʼabalabe baabwe.”

28“Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gwʼabalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ngʼobawulira okuva mu ggulu, nʼobalokolanga emirundi mingi ngʼokusaasira kwo bwe kuli.”

29 “Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba bʼamalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bwʼaba ngʼabigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira.

30 Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo nʼabayigirizanga ngʼayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gwʼabamawanga agabaliraanye.

31Naye olwʼokusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda owʼekisa era ajjudde okusaasira.”

32 “Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu owʼekitiibwa, Katonda owʼentiisa, akuuma endagaano ye eyʼokwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebyʼabakabaka bʼe Bwasuli nʼokutuusa leero.

33Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere.

34Bakabaka baffe, nʼabakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga.

35Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.”

36“Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu nʼebirungi ebirala byʼereeta.

37Olwʼebibi byaffe, ebikungulwa ebyʼensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga nʼente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”

38“Olwʼebyo byonna, tukola naawe endagaano eyʼenkalakkalira, ne tugiteeka mu buwandiike; abakulembeze baffe, nʼAbaleevi baffe, ne bakabona baffe ne bagissaako omukono nʼenvumbo zaabwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>