Obadiya 1:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya, Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu. Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda, Katonda yaweereza omubaka eri amawanga nʼobubaka buno nti, “Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”

2“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga, era olinyoomererwa ddala.

3Mwelimbye nʼamalala agali mu mitima gyammwe, mmwe abasula mu mpuku ezʼomu njazi, era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi. Mmwe aboogera nti, ‘Ani alituwanulayo nʼatussa wansi?’

4Wadde nga mwewanika waggulu ngʼempungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati wʼemmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”

4bwʼayogera Mukama.

5“Singa ababbi babajjira, nʼabanyazi ne babalumba ekiro, akabi nga kaba kabatuuseeko. Tebandibabbyeko byonna bye baagala? Oba singa abanozi bʼemizabbibu bakujjiridde, tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?

6Esawu alinyagulurwa, ebyʼobugagga bye ebikusike birinyagibwa.

7Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo, Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula; abo abalya emmere yo balikutega omutego, balikutega omutego kyokka toliguvumbula.”

7

8“Ku lunaku olwo, sirizikiriza bagezi bʼe Edomu, abantu abʼamagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bwʼayogera Mukama.

9“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya, era na buli muntu mu nsozi za Esawu alittibwa.

10Olwʼebikolwa ebyʼobukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo, oliswazibwa. Olizikirizibwa nʼotaddayo kuwulirwa.

11Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali nʼotofaayo, nga banyaga obugagga bwa Isirayiri, ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye, ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi, wali omu ku bo.

12Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye ebyʼokulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olwʼokuzikirira kwʼabantu ba Yuda, newaakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.

13Temukumba nga muyita mu miryango gyʼabantu bange ku lunaku kwe baalabira obuyinike, wadde okubasekerera ku lunaku kwe baabonaabonera, newaakubadde okutwala obugagga bwabwe ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.

14Temulindira mu masaŋŋanzira okutta abo abadduka, wadde okuwaayo abawonyeewo mu biro ebyʼokulabiramu ennaku.”

14

15“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.

16Ngʼabantu bange bwe baanywa ekikompe ekyʼekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu nʼamawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma; balikinywa, babe ngʼabataganywangako.

17Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona, kubanga lutukuvu, nʼennyumba ya Yakobo eritwala omugabo gwabwe.

18Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro, nʼennyumba ya Yusufu olulimi olwʼomuliro. Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku, era baligyokya nʼeggwaawo. Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu nʼomu alisigalawo,

18kubanga Mukama akyogedde.”

19“Abantu bʼe Negebu balitwala olusozi Esawu, nʼabantu abʼomu biwonvu balitwala ensi yʼAbafirisuuti. Balyetwalira nʼennimiro ezʼomu Efulayimu ne Samaliya, ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.

20Ekibiina kyʼAbayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani, balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi; abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi, balyetwalira ebibuga mu Negebu.

21Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni, okufuga ensozi za Esawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>