1ⓐ Awo Mukama Katonda nʼayogera ne Musa mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomu mwezi ogwokubiri ogwʼomwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi yʼe Misiri[1]. Nʼamugamba nti:
2“Bala ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ngʼobategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ngʼowandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala.
3Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna abʼomu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egyʼobukulu nʼokusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.
4Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu wʼoluggya lwa bajjajjaabe.
5Gano ge mannya gʼabasajja abajja okubayambako:
5Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;
6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
6
7mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
7
8mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
8
9mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
9
10Okuva mu baana ba Yusufu: mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
10mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;
11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
11
12mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
12
13mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
13
14mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
14
15mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
16Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze abʼebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu bʼebika bya Isirayiri.
17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe,
18ne bakuŋŋaanya ekibiina kyʼabantu bonna ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egyʼobukulu nʼokusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala,
19nga Mukama bwe yalagira Musa. Bwʼatyo Musa nʼababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
20Abʼomu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
21Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
22Abʼomu bazzukulu ba Simyoni: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
23Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
24Abʼomu bazzukulu ba Gaadi: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe, nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
25Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
26Abʼomu bazzukulu ba Yuda: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
27Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28Abʼomu bazzukulu ba Isakaali: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
29Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
30Abʼomu bazzukulu ba Zebbulooni: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
31Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
32Okuva mu batabani ba Yusufu: Abʼomu bazzukulu ba Efulayimu: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
33Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
34Abʼomu bazzukulu ba Manase: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
35Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
36Abʼomu bazzukulu ba Benyamini: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
37Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
38Abʼomu bazzukulu ba Ddaani: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
39Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40Abʼomu bazzukulu ba Aseri: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
41Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
42Abʼomu bazzukulu ba Nafutaali: Abasajja bonna abʼemyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ngʼebiwandiiko byʼebika byabwe nʼebyʼempya zaabwe bwe byali.
43Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
44Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze abʼomu Isirayiri ekkumi nʼababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye.
45Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egyʼobukulu amakumi abiri nʼokusingawo, nga batuuse nʼokuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe.
46Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
47Abazzukulu abʼomu mpya ezʼomu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo abʼomu kika kya Leevi tebaabalibwa.
51Eweema bwʼeneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bwʼanaagisembereranga anaafanga.
52Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe nʼebendera ye ku bubwe.
53Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema eyʼObujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga nʼobuvunaanyizibwa obwʼokulabirira Eweema eyʼObujulirwa.”
54Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.