1Mukama nʼagamba Musa nti,
2“Weesa mu ffeeza amakondeere abiri ogakozesenga okuyitanga abantu bonna okukuŋŋaana, era nʼokubalagira okuggyawo ensiisira zaabwe.
3Amakondeere gombi bwe ganaafuuyibwanga, ekibiina kyʼabantu bonna banaakuŋŋaaniranga wʼoli ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
4Naye bwe banaafuuwangako erimu, olwo abakulembeze, be bakulu bʼebika bya Isirayiri, be banaakuŋŋaaniranga wʼoli.
5Amakondeere agʼomwanguka bwe ganaafuuyibwanga, ebika ebinaabanga bisiisidde ku luuyi olwʼebuvanjuba binaasitulanga okutambula.
6Ate bwe banaafuuwanga agʼomwanguka omulundi ogwokubiri, ensiisira ezinaabanga mu bukiikaddyo, zinaasitulanga okutambula. Amakondeere agʼomwanguka ke kanaabanga akabonero akanaabategeezanga nti Basitule batambule.
7Naye bwe kineetaagisanga okukuba olukuŋŋaana, onoofuuwanga amakondeere naye tegaabenga ga mwanguka.
8“Abaana ba Alooni, bakabona, be banaafuuwanga amakondeere. Lino linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira mu mmwe ne mu mirembe egigenda okujja.
9Bwe munaagendanga okutabaala omulabe abajoogerereza mu nsi yammwe, mufuuwanga amakondeere agʼomwanguka. Bwe mutyo munajjukirwanga Mukama Katonda, era anaabawonyanga abalabe bammwe.
10Mu biseera ebyʼessanyu, ne ku mbaga zammwe entongole ne ku mbaga zʼomwezi ogwakaboneka, munaafuuwanga amakondeere nga bwe muwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa nʼebiweebwayo byammwe olwʼemirembe, era binaabanga bijjukizo byammwe awali Mukama Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
11Awo olwatuuka ku lunaku olwʼamakumi abiri mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri, ekire ne kisitulibwa okuva waggulu wa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
12Abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okuva mu Ddungu lya Sinaayi, oluvannyuma ekire ne kiyimirira mu Ddungu lya Palani.
13Ogwo gwe gwali omulundi omubereberye okusitula okutambula nga bagendera ku kiragiro kya Mukama Katonda kye yayisa mu Musa.
14Olusiisira lwʼabaana ba Yuda lwe lwasooka okusitula okutambula, nga bakulemberwa ebendera yaabwe; Nakusoni mutabani wa Amminadaabu nga ye muduumizi waabwe.
15Nesaneri mutabani wa Zuwaali ye yaduumira ekibinja kyʼekika kya Isakaali,
16ne Eriyaabu mutabani wa Keroni nʼaduumira ekibinja kyʼekika kya Zebbulooni.
17Eweema ya Mukama nʼesimbulwa, batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali abaagyetikkanga ne basitula ne batambula.
18Ebibinja byʼomu lusiisira lwa Lewubeeni bye byaddako okusitula okutambula awamu nʼebendera yaabyo, nga biduumirwa Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
19Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi ye yaduumira ekibinja kyʼekika kya Simyoni,
20ne Eriyasaafu mutabani wa Deweri nʼaduumira ekibinja kyʼekika kya Gaadi.
21Abakokasi ne basitula okutambula nga beetisse ebintu ebitukuvu. Eweema ya Mukama ngʼemala kusimbibwa, nabo ne balyoka batuuka.
22Ebibinja byʼomu lusiisira lwa Efulayimu bye byaddirira okusitula okutambula awamu nʼebendera yaabyo; Erisaama mutabani wa Ammikudi nga ye muduumizi waabyo.
23Gamalyeri mutabani wa Pidazuuli ye yaduumira ekibinja kyʼekika kya Manase;
24ne Abidaani mutabani wa Gidyoni nʼaduumira ekibinja kyʼekika kya Benyamini.
25Ku nkomerero ya byonna, ebibinja byʼomu lusiisira lwa Ddaani, nga bye bikuuma emabega, ne bisitula okutambula nʼebendera yaabyo nga bikoobedde ensiisira zonna; Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi nga ye muduumizi waabyo.
26Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye yaduumira ekibinja kyʼekika kya Aseri;
27ne Akira mutabani wa Enani nʼaduumira ekibinja kyʼekika kya Nafutaali.
28Eyo ye yali entegeka eyʼabaana ba Isirayiri ngʼebibinja byabwe bwe byali nga basitula okutambula.
29Awo Musa nʼagamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30Naye nʼaddamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31Naye Musa nʼamugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe.
32Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama kyʼanaatuwanga.”
33Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama eyʼEndagaano nʼebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ngʼebanoonyeza ekifo ekyʼokuwummuliramu.
34Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35
36Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa nʼagamba nti,