Okubala 11:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo abantu ne beemulugunya olwʼebizibu byabwe nga ne Mukama awulira; bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka. Omuliro ne guva eri Mukama ne gwakira mu bo, ne gwokya ebitundu ebimu ebyali bikomererayo ebyʼolusiisira lwabwe.

2Abantu ne bakaabirira Musa; Musa nʼasaba Mukama, omuliro ne guzikira.

3Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera, kubanga omuliro ogwava eri Mukama gwabaakiramu.

4Abagwira abaali beetabudde mu baana ba Isirayiri ne baluluunkanira ebyokulya; nʼabaana ba Isirayiri nabo ne bongera okukaaba nga bwe bagamba nti, “Singa nno tufuna ku nnyama ne tulyako!

5Tukyajjukira ebyennyanja bye twalyanga mu Misiri nga tewali na kye tubisasulidde, ne wujju nʼensujju, nʼenderema nʼobutungulu ne katungulukyumu nʼebyokuliira.

6Naye kaakano nʼokwoya emmere kutuweddemu, buli we tukuba eriiso tulaba mmaanu eno!”

7 Emmaanu yafaanananga ngʼensigo za koliyanda, nga nʼekifaananyi kyayo kiri ngʼekya bideriamu.

8Abantu baagendanga ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku lubengo oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu oba ne bakolamu bukeeke. Nga mu kamwa ebanga ekoleddwa nʼamafuta ga zeyituuni.

9Omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro nʼemmaanu nayo nʼegwa nagwo.

10Musa nʼawulira abantu aba buli luggya nga bakaaba, buli omu ngʼakaabira mu muzigo gwʼeweema ye; obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuuka nnyo, ne Musa nʼasoberwa nʼanyiikaala.

11Musa nʼagamba Mukama Katonda nti, “Lwaki oleetedde omuddu wo obuzibu buno? Nkoze ki ekitakusanyusizza ne kikuleetera okwetikka omugugu gwʼabantu bano bonna?

12Nze nali olubuto omwali abantu bano bonna? Nze nabazaala? Lwaki oŋŋamba okubasitula mu mikono gyange ngʼomulezi wʼabaana bwʼasitula omwana omuwere mbatwale mu nsi gye wabasuubiza ngʼogirayirira bajjajjaabwe?

13Ennyama abantu bano bonna gye banaalya nnaagiggya wa? Kubanga baneetayirira nga bankaabirira nti, ‘Tuwe ennyama tulye!’

14Sisobola kusitula bantu bano bonna bwʼomu kubanga obuzito bwabwe buyinza okummenya nga ndi nzekka.

15Obanga bwʼotyo bwʼojja okumpisa, ate nga bulijjo ondaga ekisa kyo, kale nno nzitiraawo kaakano oleme kundeka ne neereetera okwezikiriza.”

16Mukama nʼagamba Musa nti, “Nfunira abasajja nsanvu mu bakulu ba Isirayiri bʼomanyi nga be bakulu bʼabantu era nga be bakulembeze baabwe obaleete ku Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, bayimirire awo naawe.

17Nzija kukka awo njogere naawe; era nzija kutoola ku mwoyo oguli mu ggwe ngubateekemu, balyokenga bakusitulireko omugugu gwʼabantu oleme kugwetikkanga wekka.

18“Abantu bagambe nti, ‘Mwetukuze nga mwetegekera olunaku lwʼenkya, lwe mujja okulya ennyama. Kubanga Mukama Katonda yabawulira nga mumukaabirira bwe muti nti, “Singa tufunye ku nnyama ne tulyako! Bwe twali mu Misiri twali bulungi!” Noolwekyo Mukama ajja kubawa ennyama mugirye.

19Temugenda kugirya mu lunaku lumu, oba mu nnaku bbiri, oba mu nnaku ttaano, oba mu nnaku kkumi, oba nnaku abiri;

20naye kumala mwezi mulambirira, okutuusa lwʼerifulumira mu nnyindo zammwe nʼebanyiwa, kubanga mwesamudde Mukama Katonda abeera mu mmwe, ne mumukaabirira nga mugamba nti, “Mu Misiri twaviirayo ki?” ’ ”

21Musa nʼagamba nti, “Abantu bano mwe ndi bawera omuwendo gwa mitwalo nkaaga abatambuza ebigere, naawe ogamba nti, ‘Nzija kubawa ennyama gye banaalya okumala omwezi mulamba!’

22Ebisolo ebiri mu biraalo ne mu bisibo bwe binattibwa binaabamala? Nantiki ebyennyanja byonna ebyʼomu nnyanja bwe binaavubibwa ne bibaweebwa, binaabamala?”

23Mukama nʼagamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire.”

24Awo Musa nʼafuluma nʼategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; nʼakuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze bʼabantu nʼabayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama.

25Awo Mukama Katonda nʼakkira mu kire nʼayogera ne Musa, nʼaddira ku mwoyo ogwali mu Musa nʼagussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

26Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira.

27Omuvubuka nʼadduka nʼagenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”

28Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ngʼakyali muvubuka nʼagamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”

29Naye Musa nʼamugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda nʼabawa omwoyo gwe!”

30Musa nʼabakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.

31Awo empewo nʼeva eri Mukama Katonda nʼereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olwʼolusiisira nʼolugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala.

32Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana nʼekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira.

33Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu nʼabaleetera kawumpuli owʼamaanyi ennyo.

34Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosukatava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.

35Abantu bwe baava e Kiberosukatava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>