Okubala 12:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olwʼomukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi.

2Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda nʼabiwulira.

3Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.

4Amangwago Mukama nʼayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu nʼabagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda.

5Mukama Katonda nʼakkira mu mpagi eyʼekire, nʼayimirira ku mulyango gwa Weema nʼayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera

6nʼabagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange:

6Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, Nneeraga gyʼali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto.

7 Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa; mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.

8Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?”

9Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, nʼabaviira.

10Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu nʼagengewala, nʼatukula ngʼomuzira. Alooni nʼamukyukira nʼalaba ngʼagengewadde;

11nʼagamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe.

12Tomuleka omubiri gwe okufaanana ngʼogwʼomwana omuwere azaalibwa ngʼali ngʼafudde, ngʼomubiri gwe guweddemu ensa.”

13Musa nʼakaabirira Mukama ngʼagamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.”

14Mukama Katonda nʼaddamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru wʼolusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”

15Bwʼatyo Miryamu nʼasibirwa ebweru wʼolusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo.

16Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>