1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
2“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”
3Bwʼatyo Musa nʼabatuma okuva mu ddungu lya Palani, ngʼekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze ba baana ba Isirayiri.
4Amannya gaabwe ge gano:
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16Ago ge mannya agʼabasajja Musa be yatuma okugenda okuketta nʼokwetegereza ensi eyo. Musa yali atuumye Koseya mutabani wa Nuuni erinnya Yoswa.
17Musa nʼabatuma okuketta nʼokwetegereza ensi ya Kanani, nʼabagamba nti, “Mwambuke nga muyita mu Negebu muggukire mu nsi eyʼensozi.
18Mwetegerezenga ensi nga bwʼefaanana, nʼabantu baamu nga bwe bali, obanga ba maanyi oba banafu, obanga bangi oba batono.
19Mulyetegereza obanga ensi mwe babeera nnungi oba mbi. Era muliraba ebibuga byabwe obanga tebiriiko bisenge bya bbugwe oba byetooloddwa bigo.
20Mulikebera okulaba obanga ensi yaabwe ngimu oba nkalu, era obanga erimu emiti mingi oba temuli. Mwenywezanga ne muleetayo ku bibala ebyʼomu nsi eyo.” Ekyo kye kyali ekiseera ezabbibu nga zaakatandika okwengera.
21Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi nʼawayingirirwa mu Kamasi.
22Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani ekyʼomu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa.
23Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli
24Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olwʼekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.
25Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi.
26Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka nʼeri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo.
27Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu.
28Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, nʼebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate nʼekirala twalabaayo nʼabazzukulu ba Anaki.
29Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti nʼAbayebusi, nʼAbamoli babeera mu nsi eyʼensozi; nʼAbakanani ne babeera okumpi nʼennyanja ne ku lubalama lwʼomugga Yoludaani.”
30Awo Kalebu nʼasirisa abantu awali Musa nʼagamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”
31Kyokka abaagenda ne Kalebu okuketta ne baddamu nti, “Abantu bali tetubasobola, batusinga amaanyi.”
32Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ngʼefa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate nʼabantu bonna be twalabamu baali ba kiwago.
33Twalabayo nʼAbanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ngʼobwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”