1Ekiro ekyo abantu bonna mu kibiina ne bayimusa amaloboozi gaabwe ne bakaaba nʼeddoboozi eryʼomwanguka.
2Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi yʼe Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!
3Lwaki Mukama atutwala mu nsi eyo, tutuuke eyo tulyoke tuttibwe nʼekitala? Abakazi baffe nʼabaana baffe bagenda kunyagibwa. Okuddayo mu Misiri si kye kinaasingako?”
4Ne boogeraganya nti, “Ka twerondere omukulembeze tuddeyo mu Misiri.”
5Awo Musa ne Alooni ne bavuunama wansi mu maaso gʼekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri abaali bakuŋŋaanidde awo.
6Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe
7ne bagamba ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo.
8Mukama Katonda bwʼaliba atusanyukidde, alitukulembera nʼatutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, era agenda kugituwa.
9
10Naye abantu bonna mu kibiina ne bateesa okubakuba mayinja. Awo ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira eri abaana ba Isirayiri bonna mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
11Mukama nʼagamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo?
12Nzija kubaboola mbazikirize ne kawumpuli, mbasaanyeewo; naye nzija kukuggyamu ggwe eggwanga eriribasinga abo obukulu nʼamaanyi.”
13Naye Musa nʼagamba Mukama Katonda nti, “Ebyo Abamisiri bagenda kubiwulira! Kubanga abantu bano wabaggya mu nsi yʼAbamisiri nʼobuyinza obwʼamaanyi amangi.
14Bajja kubuulirako ku bantu abʼomu nsi muno. Baamala dda okukiwulira nga ggwe, Ayi Mukama, obeera wakati mu bantu bano, era nga, Ayi Mukama Katonda, mulabagana nabo amaaso nʼamaaso, era ngʼekire kyo kibeera nabo buli kiseera, era ngʼobakulemberera mu mpagi eyʼekire emisana ne mu mpagi eyʼomuliro ekiro.
15Singa abantu bano obatta bonna omulundi gumu, amawanga agawulidde obututumufu bwo gagenda kugamba nti,
16‘Kubanga Mukama Katonda yali tasobola kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabasuubiza ngʼagibalayirira; kyeyava abattira mu ddungu.’
17“Ne kaakano nkwegayirira oyoleke obuyinza bwo, Ayi Mukama nga bwe buli obusukkirivu nga bwe wasuubiza nti,
18‘Mukama Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi nʼobujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olwʼebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu nʼogwokuna.’
19Ngʼokwagala kwe okungi okutaggwaawo bwe kuli, nsaba osonyiwe abantu bano ekibi kyʼabwe, nga bwʼozze obasonyiwa kasookedde bava mu Misiri nʼokutuusa leero.”
20Awo Mukama Katonda nʼaddamu nti, “Mbasonyiye nga bwʼonsabye.
21Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ngʼekitiibwa kya Mukama Katonda bwe kijjuza ensi yonna,
22tewalibaawo nʼomu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange nʼobubonero obwʼebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi,
23tewalibaawo nʼomu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo nʼomu ku bo abannyoomye aligirabako.
24Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogwʼenjawulo era ngʼangoberera nʼomutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, nʼezzadde lye lirigirya.
25Kale nno olwokubanga Abamaleki nʼAbakanani babeera mu biwonvu; enkya muddeeko emabega, musitule mutambule nga mwolekera eddungu nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu.”
26Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,
27“Ekibiina kino ekibi kirituusa ddi nga kinneemulugunyiza? Mpulidde okutolotooma kwʼabaana ba Isirayiri nga banneemulugunyiza.
28Bategeeze nti, ‘Mukama agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bwʼayogera Mukama Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola.
29
30Tewaliba nʼomu ku bo aliyingira mu nsi gye neelayirira nti Ge galibeera amaka gammwe, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
31Naye abaana bammwe abato, be mwogeddeko nti Balifuulibwa omunyago, ndibayingiza mu nsi eyo gye mugaanye ne beeyagalira omwo.
32Naye mmwe, emirambo gyammwe girisigala mu ddungu muno mwe girigwa.
33
34Nga bwe mwamala ennaku amakumi ana nga muketta ensi eri, bwe mutyo bwe mujja okumala emyaka amakumi ana mu ddungu, nga buli lumu ku nnaku ezo muvaamu mwaka gumu gumu; muboneebone olwʼebibi byammwe, mulyoke mutegeere obuzibu obwʼokunneesimbamu.
35Nze, Mukama Katonda, nkyogedde; ddala ddala ekyo ndikikola ku kibiina kyonna ekyʼabantu bano aboonoonyi abeegasse awamu okunjolekera. Tebagenda kuva mu ddungu lino, bonna mwe balifiira.’ ”
36Abasajja abo Musa be yatuma okuketta ensi ne bakomawo ne beemulugunyiza ekibiina kya bantu bonna nga babaleetedde obubaka obutaali bulungi ku nsi eri, era ne babubunyisa mu bantu,
37abasajja abo abaaleeta obubaka obutaali bulungi ne babubunyisa mu bantu kawumpuli nʼabattira awo mu maaso ga Mukama Katonda.
38Mu basajja bonna abaatumibwa okuketta ensi, Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune be bokka abaasigalawo nga balamu.
39Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri bonna ebigambo ebyo, ne bakungubaga nnyo.
40Enkeera mu makya ne bambuka mu nsi eyʼensozi. Ne boogera nti, “Twayonoona, naye nga bwe tuli wano tujja kwambuka tuyingire mu nsi Mukama Katonda gye yatusuubiza.”
41Naye Musa nʼabagamba nti, “Lwaki munyooma ekiragiro kya Mukama Katonda? Ebyo bye mutegeka tebiyinza kutuukiririra.
42Temwambuka kubanga Mukama Katonda tali nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.
43Kubanga Abamaleki nʼAbakanani bajja kuboolekera. Olwokubanga mwekyusizza ne muva ku Mukama Katonda, tajja kubeera nammwe, ekitala kijja kubatta.”
44Naye era bo ne beesigula ne bambuka mu nsi eyʼensozi, newaakubadde nga Musa teyagenda nabo era nga nʼessanduuko eyʼendagaano yasigala mu lusiisira.
45Awo Abamaleki nʼAbakanani abaabeeranga mu nsi eyo eyʼensozi ne bakkirira ne babalumba ne babakubira ddala okubatuusa e Koluma.