Okubala 15:1-41 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa

2ayogere nʼabaana ba Isirayiri abagambe nti, “Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawadde, mwe munaabeeranga, nga ge maka gammwe,

3ne muleetera Mukama Katonda ebiweebwayo ebyokye nga mubiggya mu biraalo byammwe oba mu bisibo byammwe, ekiweebwayo ku muliro oba ssaddaaka enjokye, okutuukiriza obweyamo bwammwe oba ebiweebwayo olwʼokweyagalira oba ku mbaga zammwe entongole, ne muvaamu akawoowo akasanyusa Mukama;

4kale nno oyo anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda anaawangayo ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke eweza nga kilo emu nʼekitundu ezʼobuwunga obulungi, nga mutabuddwamu nʼamafuta agʼomuzeeyituuni agaweza nga obutundu mwenda obwa Ini[11] eyʼamafuta agʼomuzeeyituuni.

5Ku buli mwana gwa ndiga ogwʼekiweebwayo ekyokebwa oba ogwa ssaddaaka, munaateekerateekerangako obutundu mwenda obwa Ini eya wayini nga kye kiweebwayo ekyokunywa.

6“Bwe munaabanga muwaayo endiga ennume munaateekateekanga ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke eweza nga kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu obwa Ini ezʼobuwunga obulungi nga mutabuddwamu nʼamafuta agʼomuzeeyituuni agʼobutundu mwenda nʼobutundu bubiri obwa Ini,

7era nʼobutundu mwenda nʼobutundu bubiri obwa Ini obwa wayini nga kye kiweebwayo ekyokunywa, ekyʼakawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

8“Bwe munaabanga muteekateeka ente ennume ento eyʼekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olwʼemirembe eri Mukama Katonda,

9ku nte eyo ennume munaaleeterangako ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke eweza gulaamu mukaaga nʼekitundu ezʼobuwunga obulungi nga mutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni agaweza kilo emu nʼekitundu.

10Era munaaleetanga wayini aweza lita bbiri nga kye kiweebwayo ekyokunywa. Kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

11Buli nte ennume oba endiga ennume, na buli mwana gwa ndiga oba embuzi ento, zonna zinaateekebwateekebwanga mu ngeri eyo.

12Munaakolanga bwe mutyo ku buli gye munaateekateekanga nga bwe zinenkananga obungi.

13“Buli nzaalwa yenna kimusaanira okugobereranga enkola eyo buli lwʼanaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro, ne kivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

14Mu mirembe gyammwe gyonna egirijja, omugwira oba omugenyi yenna anaabeeranga mu mmwe bwʼanaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ku muliro ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda, anaakoleranga ddala nga bwe mukola.

15Ekibiina kyammwe kyonna kinaabeeranga nʼamateeka geegamu, mmwe ge munaakwatanga era nʼabagwira abali mu mmwe ge banaakwatanga; eryo linaabanga etteeka eryʼenkalakkalira mu mirembe gyammwe gyonna egirijja. Mmwe nga bwe muli nʼomugwira bwʼatyo bwʼanaabanga mu maaso ga Mukama Katonda.

16Amateeka nʼebiragiro bye munaakwatanga nʼomugwira anaabeeranga mu mmwe byʼanaakwatanga.”

17Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

18“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Bwe muyingiranga mu nsi mwe mbatwala,

19ne mulya ku mmere yʼomu nsi omwo, munaaleetangako ekitundu nga kye kiweebwayo eri Mukama.

20Munaggyanga ekitole ku mmere gye munaasookanga okusa mu gguuliro ne mukireeta nga kye kiweebwayo ekivudde mu gguuliro.

21Ku mmere eyo gye munaasookerangako okusa munaaleetangako ekiweebwayo ekyo eri Mukama Katonda okuyita mu mirembe gyammwe gyonna.’ ”

22“Naye nno bwe munaalemwanga okukwata amateeka ago gonna Mukama Katonda gʼawadde Musa, nga mukikoze mu butagenderera,

23amateeka ago gonna Mukama Katonda ge yalagira Musa okugabatuusaako okuva ku lunaku Mukama lwe yagamuweerako nʼokweyongerayo okuyita mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja,

24ne mugasobya mu butagenderera nʼekibiina kyonna mu butamanya, kale nno ekibiina kyonna kinaaleetanga ekiweebwayo ekyʼente ya sseddume ento emu nga kye kiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi eri Mukama Katonda, nga kuliko nʼekiweebwayo kyʼemmere yʼempeke nʼekyokunywa ngʼetteeka bwe liragira, nʼekiweebwayo ekyʼembuzi ennume emu olwʼekibi.

25Kabona anaatangiririranga ekibiina kyʼabaana ba Isirayiri bonna, era bwe batyo banaasonyiyibwanga; kubanga baasobya mu butagenderera, ate banaabanga baleese ekiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa ku muliro, era nʼekiweebwayo eri Mukama Katonda olwʼekibi olwʼekisobyo kyabwe ekitaali kigenderere.

26Ekibiina kyʼabaana ba Isirayiri bonna, bwe batyo banaasonyiyibwanga, nʼabagwira abanaabeeranga mu bo nabo banaasonyiyibwanga, kubanga abantu bonna banaabanga basoberezza wamu nga tebagenderedde.

27“Naye omuntu bwʼanaasobyanga ngʼali bwʼomu mu butagenderera, anaaleetanga embuzi enduusi eyʼomwaka gumu ogwʼobukulu nga kye kiweebwayo olwʼekibi.

28Kabona anaatangiririranga, eri Mukama, omuntu oyo asobezza mu butagenderera; bwʼanaamalanga okutangiririrwa, anaasonyiyibwanga.

29Munaabeeranga nʼetteeka lye limu erinaakozesebwanga ku muntu yenna anaasobyanga nga tagenderedde, bwʼanaabanga enzaalwa oba ne bwʼanaabanga omugwira bulijjo abeera mu mmwe.

30“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bwʼanaabanga enzaalwa ne bwʼanaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala.

31Olwokubanga anaabanga anyoomye ekigambo kya Mukama Katonda, nʼamenya etteeka lye, omuntu oyo anaagoberwanga ddala okuva mu bantu be, ne bamwesalirako ddala, era ekibi kye ekyo kinaasigalanga ku mutwe gwe.”

32Abaana ba Isirayiri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basisinkana omusajja omu ku bʼomu kibiina kyʼAbayisirayiri eyali atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.

33Abo abaamusanga ngʼatyaba enku ne bamuleeta eri Musa ne Alooni nʼekibiina kyonna,

34ne bamuggalira mu kkomera, kubanga baali tebamanyi bulungi kya kumukolera.

35Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Omusajja oyo ateekwa kuttibwa. Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru wʼolusiisira.”

36Ekibiina kyonna ne kimufulumya wabweru wʼolusiisira ne kimukuba amayinja nʼafa, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

37Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

38“Yogera eri abaana ba Isirayiri obalagire beekolere amatanvuuwa bagatungenga ku nkugiro zʼebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era ku buli ttanvuuwa batungengako akaguwa akabbululu.

39Amatanvuuwa ago munaagatunulangako, ekyo ne kibajjukiza amateeka ga Mukama Katonda gonna ge musaanira okugonderanga, mulyoke mugagobererenga mulemenga okweyonoonyesa nga mukola ebyo ebitaliimu nsa byokka nga bye bisanyusa amaaso gammwe nʼemitima gyammwe.

40Bwe mutyo munajjukiranga amateeka gange ne mubeera batukuvu eri Katonda wammwe.

41Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi yʼe Misiri, okubeeranga Katonda wammwe; Nze Mukama Katonda wammwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>