1
2ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu.
3Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina kyʼabantu ba Mukama?”
4Musa bwe yakiwulira nʼavuunama wansi.
5Nʼalyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, nʼoyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gyʼali. Oyo gwʼanaalonda gʼwanaasembeza gyʼali.
6Gwe Koola nʼabagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo,
7enkya mubiteekemu omuliro nʼobubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gwʼanaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”
8Musa nʼagamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi!
9Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako nʼabaggya ku kibiina ekinene ekyʼabaana ba Isirayiri nʼabasembeza wʼabeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nʼokuyimiriranga mu maaso gʼekibiina nʼokubaweereza?
10Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gyʼali, kaakano mwagala nʼobwakabona nabwo mubulye?
11Noolwekyo mmwe nʼabagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”
12Awo Musa nʼatumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja!
13Ekyʼokutuggya mu nsi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge?
14Ngʼebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata nʼomubisi gwʼenjuki, wadde okutusikiza amasamba nʼennimiro zʼemizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”
15Awo Musa nʼasunguwala nnyo nʼagamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali nʼomu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”
16Musa nʼagamba Koola nti, “Ggwe nʼabo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni.
17Buli musajja ajje nʼekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.”
18Awo buli musajja nʼaddira ekyoterezo kye nʼakissaamu obubaane nʼomuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
19Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye.
20Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,
21“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”
22Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda owʼemyoyo egyʼabantu bonna, omuntu omu bwʼayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”
23Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
24“Muve okumpi nʼeweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”
25Awo Musa nʼasituka nʼagenda eri Dasani ne Abiraamu, nʼabakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera.
26Nʼagamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi nʼeweema zʼabasajja bano abakozi bʼebibi! Temukwata ku kintu kyabwe nʼekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olwʼebibi byabwe.”
27Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi nʼeweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, nʼobwana bwabwe obuto.
28Awo Musa nʼagamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda yʼantumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange.
29Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Katonda si yʼantumye.
30Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi nʼeyasamya akamwa kaayo nʼebamira nga balamu nʼebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ngʼabasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”
31Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri,
32ensi nʼeyasamya akamwa kaayo nʼebamira nʼebintu byabwe byonna ebyʼomu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna nʼebintu byabwe byonna.
33Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, nʼebintu byabwe byonna bye baalina; ensi nʼebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe.
34Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”
35Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo ekyʼobubaane.
36Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
37“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda agʼomuliro agasaasaanyize wala.
38Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era nʼokufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ngʼebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”
39Bwʼatyo Eriyazaali kabona nʼaddira ebyoterezo ebyʼekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto,
40kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ngʼafuuka nga Koola nʼekibiina kye. Eriyazaali bwʼatyo bwe yabikola byonna ngʼekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.
41Naye enkeera ekibiina kyonna ebyʼabaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.”
42Kyokka ekibiina kyʼabantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka nʼekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka.
43Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,
44Mukama nʼagamba Musa nti,
45“Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.
46Awo Musa nʼagamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, nʼomuliro ngʼoguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.”
47Alooni nʼakola nga Musa bwe yamulagira, nʼadduka nʼagenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni nʼawaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra;
48nʼayimirira wakati wʼabafu nʼabalamu, kawumpuli nʼaziyizibwa.
49Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olwʼemitawaana gya Koola tobataddeeko.
50Alooni nʼakomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.