1Awo Mukama nʼagamba Musa nti,
2“Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi nʼebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gwʼaleese.
3Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze wʼekika kyʼobujjajja ajja kubeera nʼomuggo ggumu.
4Olyoke ogiteeke mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu mu maaso gʼEssanduuko eyʼEndagaano, we mbasisinkana.
5Kale nno omuggo gwʼoyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okwʼabaana ba Isirayiri.”
6Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ngʼebika byʼobujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gyʼemiggo kkumi nʼebiri, nga nʼomuggo gwa Alooni mwe guli.
7Musa nʼateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama awali Essanduuko eyʼEndagaano.
8
9Musa nʼafulumya emiggo gyonna ngʼagiggya mu maaso ga Mukama Katonda, nʼagireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu nʼaggyawo omuggo gwe.
10Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko eyʼEndagaano gukuumirwenga awo ngʼakabonero akʼokulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa.”
11Musa nʼakola nga Mukama bwe yamulagira.
12Awo abaana ba Isirayiri ne bagamba Musa nti, “Laba, ffenna tujja kufa! Tujja kuggwaawo, tujja kuzikirira.
13Buli muntu anaasembereranga Eweema ya Mukama ajjanga kufa. Ffenna tuli ba kuzikirira?”