Okubala 18:1-32 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, nʼabʼomu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olwʼemisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona.

2Onooleetanga Abaleevi banno abʼomu kika kyo ekyʼobujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama omuli Essanduuko eyʼEndagaano.

3Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egyʼomu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde ebyʼomu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa.

4Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egyʼomu Weema, era tewaabenga mugwira nʼomu anaasemberanga we muli.

5“Mmwe munaabanga nʼobuvunaanyizibwa obwʼemirimu gyonna egyʼawatukuvu nʼegyʼEkyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri.

6Kale weeteegereze: nziridde abʼomu lulyo lwo olwʼAbaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ngʼekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

7Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egyʼobwakabona bwammwe egikwata ku kyoto nʼegyʼomunda wʼeggigi. Obuweereza obwʼObwakabona mbubawadde ngʼekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi nʼawatukuvu, anaafanga.”

8Awo Mukama Katonda nʼagamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogwʼolubeerera[12].

9Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo ebyʼemmere yʼempeke oba ebiweebwayo olwʼekibi, oba ebiweebwayo olwʼomusango.

10Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ngʼebyo bitukuvu nnyo.

11“Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, nʼebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa ebyʼabaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogwʼolubeerera. Buli muntu yenna owʼomu maka go omulongoofu anaalyangako.

12“Nkuwadde ku mafuta agʼomuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere yʼempeke embereberye bye baleetera Mukama ebyʼamakungula gaabwe.

13Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna owʼomu maka go omulongoofu anaalyangako.

14“Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo.

15Buli ekinaggulangawo enda yʼomuntu oba eyʼekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye owʼomuntu onoomununulanga, era nʼembereberye ezʼensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga.

16Ebyo ebyʼokununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogwʼobukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri.

17“Naye embereberye eyʼente, oba embereberye eyʼendiga oba eyʼembuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, nʼoyokya amasavu gaazo mu muliro ngʼekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

18Ennyama yaazo eneebanga yiyo ngʼekiweebwayo kyʼekifuba ekiwuubibwawuubibwa nʼekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo.

19Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogwʼolubeerera. Eneebeeranga endagaano eyʼomunnyo eya Mukama wakati we naawe nʼezzadde lyo emirembe gyonna.”

20Awo Mukama Katonda nʼagamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.

21“Ebitundu ebyʼekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olwʼomulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

22Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa.

23Abaleevi be banaakolanga emirimu egyʼomu Weema eyʼOkusisinkanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka eryʼenkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri.

24Kubanga ebitundu ebyʼekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ngʼekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.”

25Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

26“Yogera nʼAbaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu ebyʼekkumi, bye mbawadde ngʼomugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu ekyʼekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda.

27Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ngʼemmere yʼempeke eyʼomu gguuliro oba ngʼomubisi ogwʼomu ssogolero.

28Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu ebyʼekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo ebyʼekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona.

29Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.

30“Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ngʼebivudde mu gguuliro nʼebivudde mu ssogolero.

31Mmwe nʼabʼomu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olwʼomulimu gwe munaakolanga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

32Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu ebyʼabaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>