Okubala 19:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,

2“Kino kye kiragiro ekyʼetteeka Mukama kyʼalagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo.

3Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru wʼolusiisira nʼettirwa mu maaso ge.

4Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo nʼolunwe lwe nʼagumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu.

5Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, nʼennyama yaayo, nʼomusaayi gwayo nʼobusa bwayo.

6Kabona anaddiranga omuti omwerezi, nʼezobu nʼolugoye olumyufu nʼabisuula wakati mu nte eyokebwa.

7Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye nʼanaaba omubiri gwe nʼamazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

8Nʼomusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze nʼokunaaba omubiri gwe nʼamazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

9“Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu lyʼente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru wʼolusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi agʼokwerongoosa; kwe kulongoosebwa okwʼokuggibwako ekibi.

10Omuntu oyo anaayoolanga evvu lyʼente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka eryʼemirembe nʼemirembe eri abaana ba Isirayiri nʼeri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.

11“Buli anaakwatanga ku mulambo ogwʼomuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.

12Kinaamusaaniranga okwerongoosa nʼamazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olwʼomusanvu, olwo nʼalyoka abeera omulongoofu. Naye bwʼateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olwʼomusanvu, taabenga mulongoofu.

13Buli anaakwatanga ku mulambo gwʼomuntu nʼateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.

14“Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo nʼoyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu.

15Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.

16“Omuntu yenna ngʼabadde ali ebweru mu kyererezi, nʼakwata ku muntu attiddwa nʼekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba lyʼomuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.

17“Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu eryʼoku kiweebwayo olwʼekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi.

18Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu nʼaginnyika mu mazzi, nʼagamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba eryʼomuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe.

19Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lwʼomusanvu, ne ku lunaku olwʼomusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, nʼokunaaba nʼanaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.

20“Naye omuntu atali mulongoofu bwʼateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, nʼasalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu.

21Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi agʼobulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, nʼoyo anaakwatanga ku mazzi agʼokulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

22Buli kintu atali mulongoofu kyʼakwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>