Okubala 2:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,

2“Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye nʼebendera zʼempya za bajjajjaabwe.”

3Ebibinja byʼolusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olwʼenjuba gyʼeva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze wʼabantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.

4Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

5Abʼekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze wʼabantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali.

6Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

7Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze wʼabantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.

8Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

9Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ngʼebibinja byʼamaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.

10Ku ludda olwʼobukiikaddyo ebibinja ebyʼamaggye gʼomu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo nʼebendera yaabwe. Omukulembeze wʼabantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli.

11Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).

12Abʼekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze wʼabantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.

13Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

14Abʼekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze wʼabantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri.

15Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

16Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ngʼebibinja byʼamaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi nʼettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ngʼolugendo lutuuse.

17Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ngʼolugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lwʼAbaleevi, ngʼeri mu makkati gʼensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ngʼenteekateeka yʼensiisira zaabwe bwʼeri, buli musajja ngʼagenda nʼebendera ye.

18Ku ludda olwʼebugwanjuba yʼeneebeeranga olusiisira lwʼebibinja bya Efulayimu nga bakutte nʼebendera zaabwe. Omukulembeze wʼabantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi.

19Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

20Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze wʼabantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

21Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

22Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze wʼabantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni.

23Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

24Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ngʼebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ngʼolugendo lutuuse.

25Ku ludda olwʼobukiikakkono yʼeneebeeranga olusiisira lwʼebibinja bya Ddaani nʼebendera yaabwe. Omukulembeze wʼabantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.

26Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

27Abʼekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze wʼabantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.

28Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

29Abʼekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze wʼabantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.

30Abʼomu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

31Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi nʼettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ngʼolugendo lutuuse, ngʼebendera zaabwe bwe ziri.

32Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ngʼempya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ngʼebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

33Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bwʼatyo Mukama bwe yalagira Musa.

34Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ngʼebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>