1Mu mwezi ogwʼolubereberye, ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu nʼafiira eyo, era gye yaziikibwa.
2Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni.
3Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda!
4Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano nʼebisibo byaffe?
5Lwaki watuggya mu nsi yʼe Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”
6Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso gʼekibiina kyʼabantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira.
7Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
8“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga nʼekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bwʼotyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese nʼebisibo byabwe.”
9Musa nʼaggya omuggo awali Mukama nʼagutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
10Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina kyʼabantu bonna awali olwazi, Musa nʼagamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
11Awo Musa nʼayimusa omukono gwe nʼakuba olwazi nʼomuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, nʼebisibo byabwe nabyo ne binywa.
12Naye Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino ekyʼabaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina kya bantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”
13Ago ge mazzi agʼe Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.
14Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ngʼasinziira e Kadesi ngʼamugamba nti,
15Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe;
16naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, nʼatutumira malayika nʼatuggya mu nsi yʼe Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo nʼensi yo.
17Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro zʼemizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”
18Naye Edomu nʼaddamu nti,
19Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,
20Naye Edomu nʼaddamu nti,
21Bwʼatyo Edomu nʼagaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri nʼamuviira.
22Awo ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola.
23Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana nʼensalo yʼensi ya Edomu, nti,
24“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi agʼe Meriba.
25Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola;
26Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”
27Musa nʼakola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ngʼabantu bonna mu kibiina balaba.
28Musa nʼayambulamu Alooni ebyambalo, nʼabyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni nʼafiira awo ku ntikko yʼolusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi wʼolusozi.
29Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, abʼomu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.