Okubala 21:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Kabaka Omukanani owʼe Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, nʼawulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, nʼalumba Isirayiri nʼamulwanyisa nʼawambamu abamu ku bo.

2Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bwʼonoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.”

3Mukama Katonda nʼawulira okwegayirira kwʼAbayisirayiri, Abakanani nʼabawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.

4Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza.

5 Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; nʼobumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”

6Awo Mukama nʼasindikira abantu emisota emikambwe egyʼobusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa.

7Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa nʼasabira abantu.

8Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egyʼobusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, nʼagutunulako, anaawonanga.”

9Awo Musa nʼaweesa omusota ogwʼekikomo, nʼaguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota nʼatunula ku musota ogwʼekikomo, ngʼawona, ngʼaba mulamu.

10Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Obosi, ne basiisira omwo.

11Ne basitula okuva mu Obosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olwʼebuvanjuba.

12Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo.

13Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala wʼomugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu nʼAbamoli.

14Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo kyʼEntalo za Mukama Katonda, nti,

14“Vakebu ne Sufa, nʼebiwonvu bya Alunoni,

15nʼobuserengeto bwʼebiwonvu ebituuka ku kibuga kya Ali, ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”

16Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

17Isirayiri nʼalyoka ayimba oluyimba luno, nti, “Weetale, ggwe Oluzzi! Muluyimbirire!

18Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima, abakungu nʼabantu lwe baayiikuula, abakungu, emiggo gyabwe.”

19Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi.

20Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi wʼolusozi Pisuga, kwʼosinziira okulengera eddungu.

21Awo Isirayiri nʼatuma ababaka eri Sikoni kabaka wʼAbamoli ngʼamugamba nti,

22“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro zʼemizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23Naye Sikoni nʼatakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. Nʼakuŋŋaanya eggye lye lyonna, nʼagenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi nʼalwana ne Isirayiri.

24Isirayiri nʼamufumita nʼobwogi bwʼekitala, nʼatwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, nʼatuukira ddala ku Bamoni, nʼakoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe.

25Isirayiri nʼawamba ebibuga byonna ebyʼAbamoli nʼabeera omwo, ne Kesuboni nʼakiwambiramu nʼobubuga bwonna obwali bukyetoolodde.

26Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka wʼAbamoli kye yali awambye ngʼamaze okulwana nʼeyali kabaka wa Mowaabu nʼamuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti, Mujje e Kesuboni kizimbibwe; ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28 Omuliro gwafuluma mu Kesuboni, ennimi zʼomuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni. Gwayokya Ali ekya Mowaabu, nʼabatuula mu nsozi za Alunoni.

29Zikusanze, gwe Mowaabu! Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi! Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni owʼAbamoli ne bafuuka ngʼabanoonyi bʼobubudamu ne bawala be, ngʼabawambe.

29

30Naye tubawangudde Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni. Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa, kwe kutuukira ddala ku Medeba.

31Bwʼatyo Isirayiri nʼatuula mu nsi yʼAbamoli.

32Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu.

33Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka wʼe Basani nʼeggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali e Derei.

34Mukama nʼagamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, nʼeggye lye lyonna awamu nʼensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka wʼAbamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, nʼeggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu nʼomu[13]. Ensi ye ne bagirya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>