1Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
2Balaki mutabani wa Zipoli nʼalaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli.
3Mowaabu nʼatya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.
4Awo Mowaabu nʼagamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gwʼabantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ngʼente bwʼerya nʼesaanyaawo omuddo ogwʼoku ttale.”
5
6Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gwʼokolimira akolimirwa, ne gwʼosabira omukisa aweebwa omukisa.”
7Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu nʼabakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte nʼensimbi ezʼokumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.
8Balamu nʼabagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama kyʼanaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.
9Katonda nʼajja eri Balamu nʼamubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?”
10Balamu nʼaddamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ngʼagamba nti,
11‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”
12Naye Katonda nʼagamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”
13Enkeera mu makya Balamu nʼazuukuka, nʼagamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”
14Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”
15Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka.
16Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,
17Kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna kyʼononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”
18Naye Balamu nʼaddamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bwʼalimpa enju ye ngʼejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange.
19Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda kyʼanaayongera okuŋŋamba.”
20Mu kiro ekyo Katonda nʼajja eri Balamu nʼamugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”
21Balamu nʼagolokoka mu makya, nʼateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, nʼagenda nʼabakungu ba Mowaabu.
22Naye Katonda nʼasunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda nʼayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye.
23Endogoyi nʼeraba malayika wa Mukama Katonda ngʼayimiridde mu kkubo, nʼekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi nʼekyama nʼeva mu kkubo nʼeraga mu nnimiro. Balamu nʼagikuba agizze mu kkubo.
24Malayika wa Mukama Katonda nʼayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati wʼennimiro zʼemizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi.
25Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, nʼebetenterako ekigere kya Balamu. Nʼayongera okugikuba.
26Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, nʼayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono.
27Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda nʼegalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, nʼakuba endogoyi nʼomuggo gwe.
28Awo Mukama Katonda nʼayasamya akamwa kʼendogoyi, nʼegamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”
29Balamu nʼagamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde nʼekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”
30Endogoyi nʼegamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna nʼokutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu nʼaddamu nti, “Nedda.”
31Awo Mukama Katonda nʼalyoka azibula amaaso ga Balamu, nʼalaba malayika wa Mukama ngʼayimiridde wakati mu kkubo nʼekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. Nʼawunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi nʼavuunama.
32Malayika wa Mukama Katonda nʼamugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo lyʼokutte terinsanyusa.
33Endogoyi yandabye nʼenneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”
34Balamu nʼagamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”
35Malayika wa Mukama Katonda nʼagamba Balamu nti, “Genda nʼabasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka byʼoba oyogera.” Bwʼatyo Balamu nʼagenda nʼabakungu ba Balaki.
36Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, nʼafuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero yʼamatwale ge.
37Balaki nʼagamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”
38Balamu nʼaddamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gyʼoli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda byʼanassa mu kamwa kange.”
39Bwʼatyo Balamu nʼagenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi.
40Balaki nʼawaayo ekiweebwayo ekyʼente nʼendiga, nʼaweerezaako ne ku Balamu nʼabakungu abaali naye.
41Enkeera Balaki nʼatwala Balamu nʼamulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali