1Balamu nʼagamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume zʼente musanvu, nʼendiga ennume musanvu.”
2Balaki nʼakola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu nʼendiga ennume emu ku buli kyoto.
3Balamu nʼagamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja nʼansisinkana. Buli kyonna kyʼanambikkulira nnaakikutegeeza.” Nʼalaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
4Katonda nʼasisinkana Balamu; Balamu nʼamugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu nʼendiga ennume emu.”
5Mukama Katonda nʼassa ebigambo mu kamwa ka Balamu nʼamugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
6Nʼaddayo gye yali, nʼamusanga ngʼayimiridde awali ekiweebwayo kye, nʼabakungu bonna aba Mowaabu.
7Balamu nʼalagula nti,
8
9
10
11Balaki nʼagamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obwʼedda bwonna obadde obasabira mukisa!”
12Nʼaddamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda kyʼatadde mu kamwa kange?”
13Balaki nʼamugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala wʼonoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
14Nʼamutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, nʼazimbira eyo ebyoto musanvu nʼawaayo sseddume wʼente emu nʼendiga ennume emu ku buli kyoto.
15Balamu nʼagamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
16Mukama Katonda nʼasisinkana Balamu, nʼateeka obubaka mu kamwa ke, ngʼagamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
17Nʼaddayo gyʼali nʼamusanga ngʼayimiridde awali ekiweebwayo, ngʼali nʼabakungu ba Mowaabu. Balaki nʼamubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
18Bwʼatyo nʼalagula nti,
19
20
21
22
23
24
25Balaki nʼagamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa nʼakamu!”
26Balamu nʼaddamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda kyʼanaagamba?”
27Balaki nʼagamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Mukama Katonda anakkiriza obankoliimiririre ngʼosinziira awo.”
28Balaki nʼatwala Balamu ku ntikko yʼolusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
29Balamu nʼagamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu nʼendiga ennume musanvu.”
30Balaki nʼakola nga Balamu bwe yamusaba, nʼawaayo sseddume yʼente emu nʼendiga ennume emu ku buli kyoto.