Okubala 24:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, nʼataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye nʼayolekeza amaaso ge eddungu.

2Balamu nʼalengera ewala, nʼalaba Isirayiri gye yasiisira ngʼebika bwe byali, nʼajjirwa Omwoyo wa Katonda,

3nʼalagula nti,

3Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kwʼomuntu azibuddwa amaaso,

4okulagula kwʼoyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kwʼAyinzabyonna, eyeeyaze wansi, nʼamaaso ge nga gatunula:

4

5Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo, ebifo byo mwʼobeera, Ayi Isirayiri!

5

6Byeyaliiridde ngʼebiwonvu, ngʼennimiro ku mabbali gʼomugga, ngʼemigavu egisimbiddwa Mukama ngʼemivule egiri okumpi nʼamazzi.

7Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

7Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

8Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume eyʼomu nsiko. Basaanyaawo amawanga gʼabalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa nʼobusaale bwabwe.

9Ngʼempologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ngʼempologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa nʼoyo akukolimira akolimirwenga!

10Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. Nʼakuba mu ngalo omulundi gumu, nʼamugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.

11Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti Nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12Balamu nʼagamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti,

13‘Balaki ne bwʼalimpa ennyumba ye ngʼejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama byʼalindagira okwogera?’

14Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”

15Nʼalagula bwʼati nti, Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kwʼomuntu azibuddwa amaaso,

16Okulagula kwʼoyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kwʼAyinzabyonna eyeeyaze wansi, nʼamaaso ge nga gatunula.

16

17Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ngʼava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bwʼabatabani ba Seezi.

18Edomu[15] aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.

19Omufuzi alisituka ngʼava mu Yakobo nʼazikiriza abʼomu kibuga abaliba bawonyeewo.

20Balamu nʼalaba Amaleki, nʼalagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”

21Nʼalaba Abakeeni, nʼalagula nti: “Ekifo kyo wʼobeera wagumu, ekisu kyo kiri mu lwazi

22naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bwʼalibatwala mu busibe.”

23Ate nʼalagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo ekyʼokukola?

24Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu; birifufuggaza Asuli ne Eberi[16], naye nabyo birizikirira.”

25Awo Balamu nʼasituka nʼaddayo ewaabwe, ne Balaki nʼakwata agage.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>