1Isirayiri bwe yali mu Sitimu, abasajja ne batandika okwenda nʼabakazi ba Mowaabu,
2abaabayitanga ku kuwaayo ebiweebwayo eri bakatonda baabwe. Abaana ba Isirayiri ne balya era ne bavuunamira bakatonda abo.
3Bwʼatyo Isirayiri nʼayingirira ebyʼokusinzanga Baali owʼe Peoli. Obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako.
4Mukama nʼagamba Musa nti, “Kwata abakulembeze bʼabantu bano obatte, obaanike mu maaso ga Mukama abantu bonna we babalabira, obusungu bwa Mukama bulyoke bukkakkane buve ku Isirayiri.”
5Musa nʼagamba abalamuzi ba Isirayiri nti, “Buli omu ku mmwe atte abo abali mu mmwe abeegasse mu kusinza Baali owʼe Peoli.”
6Kale, laba, omusajja omu ku baana ba Isirayiri nʼaleeta mu maka ge omukazi Omumidiyaani awo mu maaso ga Musa, nga nʼekibiina kyonna ekya Isirayiri bali awo bakaabira mu mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.
7Naye Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, bwe yakiraba, nʼasituka mu kibiina nʼakwata effumu mu mukono gwe
8nʼagoberera Omuyisirayiri nʼamutuusa mu weema. Bombi nʼabafumita effumu ne liyita mu Muyisirayiri ne liggukira ne mu mubiri gwʼomukazi, ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli eyali alumbye abaana ba Isirayiri nʼakoma.
9Nʼabo abaafa kawumpuli baawera emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
10Mukama nʼagamba Musa nti,
11“Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ankyusisizza obusungu bwange ne mbuggya ku baana ba Isirayiri; kubanga obusungu bwe bwabuubuuka nnyo ngʼobwange olwʼobutafaayo ku kitiibwa kyange, kyenvudde sibazikiriza kubamalawo.
12Noolwekyo mutegeeze nti, ‘Laba nkola naye endagaano eyʼemirembe.
13Ye, ne bazzukulu be bonna banaabanga mu ndagaano eyʼobwakabona obwʼemirembe gyonna, kubanga yasunguwalira abaana ba Isirayiri olwʼokutyoboola ekitiibwa kya Katonda we, nʼabatangiririra.’ ”
14Omusajja Omuyisirayiri eyattirwa awamu nʼomukazi Omumidiyaani yali Zimuli mutabani wa Salu eyali omukulembeze mu kika kya Simyoni.
15Nʼerinnya lyʼomukazi Omumidiyaani eyattibwa nga ye Kozebi muwala wa Zuuli, eyali omukulembeze mu kimu ku bika bya Midiyaani.
16Mukama nʼagamba Musa nti,
17“Abamidiyaani obayigganyanga nʼobatta,
18kubanga baayagala okubazikiriza nʼenkwe zaabwe bwe baabakyamya e Peoli, nʼolwa Kozebi muwala wʼomukulembeze wʼe Midiyaani, omukazi oyo eyattibwa ku lunaku okwajjira kawumpuli olwʼebyo ebyali e Peoli.”