1Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti,
2“Bala omuwendo gwʼabantu bonna abali mu kibiina kyʼabaana ba Isirayiri, ngʼobabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri nʼokusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”
3Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lwʼomugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti,
4“Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri nʼokusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”
5Abʼomu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
6
7Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
8Mutabani wa Palu yali Eriyaabu,
9ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo kʼabagoberezi ba Koola abajeemera Mukama Katonda.
10Ensi yayasamya akamwa kaayo nʼebamira, ne bafiira wamu ne Koola; nʼabagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.
11Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
12Abʼomu kika kya Simyoni ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
13
14Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).
15Abʼomu kika kya Gaadi ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
16
17
18Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
19Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.
20Abʼomu kika kya Yuda ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
21
22Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).
23Abʼomu kika kya Isakaali ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
24
25Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).
26Abʼomu kika kya Zebbulooni ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
27Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).
28Abʼomu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
29Abʼomu kika kya Manase ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
30
31
32
33
34Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
35Abʼomu kika kya Efulayimu ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
36
37Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Efulayimu; nʼabaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).
38Abʼomu kika kya Benyamini ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:
39
40
41Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Benyamini; nʼabaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
42Abʼomu kika kya Ddaani ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
43Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).
44Abʼomu kika kya Aseri ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
45
46
47Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Aseri; nʼabaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
48Abʼomu kika kya Nafutaali ngʼennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:
49
50Ezo ze nnyiriri zʼekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).
51Okugatta awamu omuwendo gwonna ogwʼabaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).
52Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
53“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ngʼobungi bwʼamannya gaabwe bwe buli.
54Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, nʼekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bwʼamannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.
55Weegendereze okukakasa ngʼensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bwʼamannya ga bajjajja bʼekika ekyo.
56Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era nʼebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”
57Bano be Baleevi abaabalibwa ngʼenyiriri zaabwe bwe zaali:
58
59Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. Nʼazaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.
60Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
61Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.
62Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogwʼobukulu nʼokusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ngʼabaana ba Isirayiri bagabana.
63Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
64Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja nʼomu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi.
65Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti Awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali nʼomu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.