Okubala 27:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya gʼabawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.

2Lwali lumu, ne bajja okumpi nʼomulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso gʼabakulembeze nʼagʼekibiina kyonna, ne bagamba nti,

3“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi.

4Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olwʼobutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”

5Musa nʼaleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda.

6Mukama nʼagamba Musa nti,

7“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogwʼobutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era nʼomugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.

8“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bwʼanaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogwʼobusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala.

9Bwʼataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be.

10Bwʼanaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe.

11Kitaawe bwʼaba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba owʼokumpi mu kika kye, oyo yʼanaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”

12Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri.

13Bwʼonoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni,

14kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ngʼomutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi agʼe Meriba mu Kadesi mu ddungu lyʼe Zini.

15Awo Musa nʼagamba Mukama Katonda nti,

16 “Mukama Katonda wʼemyoyo gyʼabantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino,

17afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ngʼendiga ezitaliiko musumba.”

18 Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo[17], omusseeko omukono gwo.

19Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso gʼekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe.

20Mukwase ekitundu kyʼobuyinza bwo, ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri batandike okumugondera.

21 Anajjanga nʼayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ngʼakozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bwʼanaalagiranga banaafulumanga, era bwʼanaalagiranga banaayingiranga.”

22Awo Musa nʼakola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa nʼamuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso gʼekibiina kyonna.

23 Bwʼatyo nʼamussaako emikono gye, nʼamukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>