Okubala 28:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Lagira abaana ba Isirayiri ngʼobagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere eyʼebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’

3Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye kyʼojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogwʼobukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku.

4Endiga emu munaagiwangayo mu makya, nʼendiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi;

5nga muteekeddeko ne kilo emu nʼekitundu ezʼobuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ngʼemu eyʼamafuta ge zeyituuni.

6Ekyo kyʼekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa akʼekiweebwayo ekyokye eri Mukama.

7Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ngʼemu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu.

8 Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri yʼemu nʼeyo eyʼomu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’ ”

9“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo ekyʼendiga ennume ezʼomwaka ogumu ogwʼobukulu, ezitaliiko kamogo, wamu nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, nʼekiweebwayo ekyʼobuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu nga butabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni.

10Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.”

11“Ku buli lunaku olwʼolubereberye olwa buli mwezi onooleetanga ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼente ennume ento bbiri, nʼendiga ento ennume emu, nʼabaana bʼendiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogwʼobukulu; byonna nga tebiriiko kamogo.

12Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ezʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke epima kilo ssatu nʼobutundutundu bubiri nʼekitundu ezʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni;

13ku buli mwana gwʼendiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke ekyʼobuwunga obulungi obupima kilo emu nʼekitundu obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni. Ebyo byonna bye byʼekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi akʼekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda.

14Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu nʼobutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu nʼobutundu bubiri, ne ku buli mwana gwʼendiga ennume ekyokunywa ekya lita emu nʼobutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka.

15Ngʼoggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olwʼekibi eri Mukama Katonda.”

16“Olunaku olwʼekkumi nʼennya mu mwezi ogwʼolubereberye kwe kunaabanga Embaga eyʼOkuyitako kwa Mukama Katonda.

17Ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano olwʼomwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.

18Ku lunaku olwʼolubereberye munaabeeranga nʼokukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egyʼokukakaalukana.

19Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼente eza sseddume ento bbiri, nʼendiga ento ennume emu, nʼabaana bʼendiga abalume abawezezza omwaka gumu ogwʼobukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.

20Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke ngʼeweza kilo ssatu ezʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri;

21ne ku buli emu ku baana bʼendiga ennume omusanvu, kilo emu.

22Munaaleeterangako embuzi ennume emu eyʼekiweebwayo olwʼekibi olwʼokwetangiririza.

23Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya.

24Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere eyʼekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

25Ku lunaku olwʼomusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egyʼokukakaalukana.”

26“Ku lunaku olwʼebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke eyʼobuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egyʼokukakaalukana.

27Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼente ento eza sseddume bbiri, nʼendiga ento ennume emu, nʼabaana bʼendiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogwʼobukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

28Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke eyʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu;

29ne ku buli emu ku baana bʼendiga ennume omusanvu, obupima kilo emu nʼekitundu.

30Munaagattangako nʼembuzi ennume emu ento olwʼokwetangiririza.

31Ebyo byonna munaabiwangayo awamu nʼekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere eyʼempeke. Mwegenderezenga okulaba ngʼensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>