Okubala 29:1-40 LGCB2014 - Bible AI

1“Ku lunaku olwʼolubereberye olwʼomwezi ogwʼomusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogwʼokukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere.

2Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼakawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, nʼendiga ento ennume emu, nʼabaana bʼendiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogwʼobukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.

3Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke eyʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni obupima lita mukaaga nʼekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu,

4ne ku buli emu ku baana bʼendiga omusanvu, obupima kilo emu nʼekitundu.

5Mugattangako nʼembuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olwʼekibi, okwetangiririza.

6Okwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, nʼebiweebwayo byabyo ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.”

7“Ku lunaku olwʼekkumi olwʼomwezi ogwo ogwʼomusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna.

8Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekyʼente ento eya sseddume emu, nʼendiga ento ennume emu, nʼabaana bʼendiga abalume abʼomwaka ogumu ogwʼobukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ngʼebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda.

9Ku nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyʼemmere eyʼempeke eyʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu,

10ne ku buli emu ku baana bʼendiga abalume omusanvu obupima kilo emu nʼekitundu.

11Mugattangako embuzi ennume emu eyʼekiweebwayo olwʼekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olwʼekibi olwʼokwetangiririza, nʼekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere yʼempeke, nʼebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.”

12“Ku lunaku olwʼekkumi nʼettaano olwʼomwezi ogwʼomusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu.

13Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana bʼendiga abalume abaweza omwaka gumu ogwʼobukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo.

14Era munaaleeterangako ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke ekyʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi nʼessatu, nga bupima kilo ssatu nʼobutundu bubiri nʼekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume;

15ne ku baana bʼendiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu nʼekitundu ku buli emu.

16Era munaawangayo nʼembuzi emu ennume olwʼekiweebwayo olwʼekibi, ngʼokwo mugasseeko nʼebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo nʼebiweebwayo ebyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, nʼendiga ennume ento bbiri nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogwʼobukulu, nga byonna tebiriiko kamogo.

18Ku nte eza sseddume, nʼendiga ento ennume, nʼabaana bʼendiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo byako ebyʼebyokunywa, ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

19Munaagattangako embuzi ennume emu eyʼekiweebwayo olwʼekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nʼemmere yaako eyʼempeke, nʼebiweebwayo byako ebyokunywa.

20“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi nʼemu, endiga ento ennume bbiri, nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abʼomwaka ogumu ogwʼobukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.

21Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana bʼendiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo ebyʼemmere yaako eyʼempeke nʼebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

22Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olwʼekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere eyʼempeke nʼekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23“Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, nʼendiga ento ennume bbiri, nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogwʼobukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.

24Ku nte ne ku ndiga ento ennume, nʼabaana bʼendiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo ebyokunywa byako ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

25Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olwʼekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo.

27Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana bʼendiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo ebyokunywa byako ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

28Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olwʼekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako ekyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo ekyokunywa.

29“Ku lunaku olwʼomukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abʼomwaka ogumu ogwʼobukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.

30Ku nte ne ku ndiga ento ennume, nʼabaana bʼendiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo ebyokunywa byako ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

31Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olwʼekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nʼebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke, nʼekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32“Ku lunaku olwʼomusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, nʼabaana bʼendiga abalume kkumi na bana abʼomwaka ogumu ogwʼobukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.

33Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana bʼendiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo byako ebyokunywa, ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

34Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olwʼekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo ekyokunywa.

35“Ku lunaku olwʼomunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egyʼokukakaalukana.

36Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye ekyʼente eya sseddume emu, nʼendiga ennume ento emu, nʼabaana bʼendiga abalume musanvu abʼomwaka ogumu ogwʼobukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.

37Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana bʼendiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo byako ebyokunywa ngʼemiwendo egyalagirwa bwe giri.

38Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olwʼekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, nʼekiweebwayo kyako ekyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo ekyokunywa.

39“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, nʼebya kyeyagalire, nʼebiweebwayo ebyokebwa, nʼebiweebwayo ebyʼemmere yʼempeke, nʼebiweebwayo ebyokunywa nʼebiweebwayo olwʼemirembe.”

40Awo Musa nʼategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>