1Kuno kwe kuzaala kwa Alooni nʼokwa Musa mu biseera Mukama mwe yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
2
3Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, abaafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni okuba bakabona, era abaayawulibwa okuweereza mu mulimu gwʼobwakabona.
4
5Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
6“Leeta abʼomu kika kya Leevi
7Banaamukoleranga emirimu era ne baweereza nʼekibiina kyonna awali Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu awali Eweema ya Mukama.
8Banaalabiriranga ebintu byonna ebyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, ne bakola emirimu gyʼomu Weema ya Mukama nga batuukiriza ebyo byonna ebivunaanyizibwa abaana ba Isirayiri.
9Abaleevi onoobawanga eri Alooni ne batabani be; baweereddwa ddala Alooni nga baggyibwa mu baana ba Isirayiri.
10Onoolonda Alooni ne batabani be okubeera bakabona; naye bwe wanaabangawo omuntu omulala yenna nʼasembera awatukuvu, anaafanga.”
11Mukama Katonda nʼayongera okugamba Musa nti,
12“Laba, neetwalidde Abaleevi nga mbaggya mu baana ba Isirayiri mu kifo kyʼabaana ababereberye abazaalibwa abakazi mu baana ba Isirayiri. Abaleevi banaabanga bange,
13
14Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa mu ddungu lyʼe Sinaayi nti,
15“Bala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu bika byabwe
16Bwʼatyo Musa nʼababala nga Mukama Katonda bwe yamulagira, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali.
17
18
19
20
21Mu Gerusoni mwe mwava oluggya lwa Abalibuni nʼoluggya lwa Abasimeeyi; ezo nga zʼempya za Abagerusoni.
22Abaana aboobulenzi okuva ku wʼomwezi ogumu ogwʼobukulu nʼokusingawo abaabalibwa baali kasanvu mu ebikumi bitaano (7,500).
23Abʼomu Gerusoni nga baakusiisiranga ku ludda olwʼebugwanjuba emmanju wa Weema ya Mukama.
24Omukulembeze wʼempya za Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laeri.
25Abagerusoni be banaabanga nʼobuvunaanyizibwa obwʼokulabirira Eweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga balabirira ebigibikkako nʼeggigi eryʼomu mulyango oguyingira mu Weema,
26nʼentimbe ezʼomu luggya, nʼentimbe ezʼomu mizigo egiggulira ku luggya okwebungulula Weema nʼekyoto. Era banaalabiriranga nʼemiguwa awamu nʼebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu egyo.
27Mu Kokasi mwe mwava oluggya lwa Abamulaamu, nʼoluggya lwa Abayizukaali, nʼoluggya lwa Abakebbulooni, nʼoluggya lwa Abawuziyeeri; ezo zʼempya za Abakokasi.
28Abaana aboobulenzi okuva ku wʼomwezi ogumu ogwʼobukulu nʼokusingawo abaabalibwa baali kanaana mu lukaaga
29Abʼomu Kokasi nga baakusiisiranga ku ludda olwʼobukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
30Omukulembeze wʼempya za Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.
31Abakokasi be baabanga nʼobuvunaanyizibwa okulabirira Essanduuko eyʼEndagaano, nʼemmeeza, nʼekikondo kyʼettaala, nʼebyoto, nʼebintu ebyʼomu watukuvu ebikozesebwa mu kuweereza, nʼeggigi; nʼemirimu gyonna egyekuusa ku buweereza obwo.
32Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona ye yalondebwa okuba omukulu wʼabakulembeze ba Abaleevi, era nʼokulabirira abo abaaweerezanga mu watukuvu.
33Mu Merali mwe mwava oluggya lwa Abamakuli nʼoluggya lwa Abamusi; ezo nga ze mpya za Abamerali.
34Abaana aboobulenzi okuva ku wʼomwezi ogumu nʼokusingawo abaabalibwa baali kakaaga mu ebikumi bibiri (6,200).
35Omukulembeze wʼempya za Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri; Abamerali nga baakusiisiranga ku bukiikaddyo obwa Weema ya Mukama.
36Be baavunaanyizibwanga emikiikiro, nʼempagi, nʼebikondo, nʼebikwata ku Weema ya Mukama byonna nʼebyekuusa ku mirimu gyayo.
37Okwo baagattangako empagi zonna ezeebunguludde oluggya nʼentobo zaazo, nʼenkondo za Weema nʼemiguwa.
38Musa ne Alooni ne batabani baabwe baasiisiranga ku ludda olwʼebuvanjuba olwa Weema ya Mukama, okwolekera enjuba gyʼeva mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Baavunaanyizibwanga okulabirira awatukuvu ku lwʼabaana ba Isirayiri. Omuntu omulala yenna eyasembereranga awatukuvu, ngʼateekwa kufa.
39Omuwendo gwonna ogwʼAbaleevi abaabalibwa ngʼempya zaabwe bwe zaali, nga mwe muli abaana aboobulenzi okuva ku wʼomwezi ogumu nʼokusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
40Mukama Katonda nʼagamba Musa nti, “Bala abaana ba Isirayiri bonna aboobulenzi ababereberye okuva ku mwana owʼomwezi ogumu nʼokusingawo okole olukalala lwʼamannya gaabwe gonna.
41Era ojja kunfunira Abaleevi mu kifo kyʼababereberye abʼabaana ba Isirayiri, era onfunire nʼente ezʼAbaleevi mu kifo kyʼente ezʼabaana ba Isirayiri embereberye. Nze Mukama Katonda.”
42Awo Musa nʼabala abaana ba Isirayiri ababereberye nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
43Okugatta awamu abaana aboobulenzi ababereberye bonna okuva ku wʼomwezi ogumu nʼokusingawo abaabalibwa, nga nʼamannya gaabwe gawandiikiddwa ku lukalala, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri mu nsanvu mu basatu.
44Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
45“Nfunira Abaleevi badde mu kifo kyʼabaana ba Isirayiri ababereberye, nʼente zʼAbaleevi zidde mu kifo kyʼente zʼabaana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange. Nze Mukama Katonda.
46Okununula ababereberye abʼabaana ba Isirayiri ebikumi ebibiri mu ensanvu mu abasatu abasukkirira ku muwendo gwʼAbaleevi abasajja,
47onoddiranga gulaamu amakumi ataano mu ttaano ku buli omu, ngʼogeraageranyiza ku gulaamu kkumi nʼemu eyʼawatukuvu nga bwʼeri, ye sekeri
48Ensimbi ezʼokununula abaana ba Isirayiri abasukkiriramu oziwanga Alooni ne batabani be.”
49Bwʼatyo Musa nʼasolooza ensimbi ezʼokwenunula ku abo abaasukkirira ku muwendo gwʼabo abaanunulibwa Abaleevi.
50Yasolooza ku babereberye abʼabaana ba Isirayiri effeeza eyʼobuzito obwa kilo kkumi na ttaano nʼekitundu, ngʼengeraageranya ya sekeri yʼawatukuvu bwʼeri.
51Musa nʼaddira ensimbi ezʼokwenunula nʼaziwa Alooni ne batabani be, ngʼekigambo kya Mukama bwe kyali, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.