Okubala 30:1-16 LGCB2014 - Bible AI

1Musa nʼagamba abakulembeze bʼebika byʼabaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama Katonda kyʼalagidde:

2 Omusajja bwʼaneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bwʼanaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, ekigambo kye ekyo taakimenyengawo, naye anaakolanga nga bwʼanaabanga asuubizza.

3“Omukazi omuvubuka anaabeeranga akyasula mu maka ga kitaawe, bwʼaneeyamanga eri Mukama Katonda, oba bwʼanaalayiranga okutuukiriza ekisuubizo kye, kale, obweyamo bwe bwonna nʼebyo byʼanaabanga asuubizza binaasigalanga nga bwe biri.

4Naye kitaawe bwʼanaakiteegerangako, nʼamuziyiza, kale, tewaabengawo nʼekimu ku ebyo byʼanaabanga asuubizza ebinaasigalanga nga bwe biri.

5Naye kitaawe bwʼanaamugaananga ku lunaku lwʼanaakiwulira, tewaabengawo ku bweyamo bwe newaakubadde bye yalayira bye yasuubiza ebinaatuukirizibwanga, Mukama Katonda anaabimusonyiwanga, kubanga kitaawe abimuziyizza.

6“Bwʼanaafumbirwanga ngʼamaze okweyama ngʼawaddeyo nʼebisuubizo nga tamaze kwerowooza,

7bba nʼabiwulirako, naye nʼatabaako kyʼayogera; kale, obweyamo bwʼomukazi oyo nʼebisuubizo bye, bye yalagira okubituukiriza, binaasigalanga nga bwe biri.

8Naye singa bba bwʼamala okubiwulirako nʼamuziyiza, olwo obweyamo bwʼomukazi oyo nʼebyo byonna bye yasuubiza nga teyeerowozezza, biba bifudde, era Mukama Katonda anaasonyiwanga omukazi oyo.

9“Obweyamo nʼebisuubizo bwe binaakolebwanga nnamwandu oba omukazi eyayawukanira ddala ne bba mu bufumbo, binaasigalanga nga bwe biri.

10“Omukazi ali mu bufumbo ngʼabeera wamu ne bba mu maka gaabwe, bwʼaneeyamanga oba nʼasuubiriza ku kirayiro ngʼalibaako byʼatuukiriza,

11bba nʼabiwulirako, naye nʼatabaako kyʼagamba mukazi we, nʼatamuziyiza; kale, obweyamo bwʼomukazi oyo bwonna bunaasigalangawo, ne buli kimu kyonna kye yasuubiza ne yeerayirira, binaasigalangawo.

12Naye bba bwʼanaabanga abiwuliddeko, kyokka nʼabidibya nʼabisazaamu, olwo tewaabengawo bweyamo oba ebisuubizo ebyava mu kamwa kʼomukazi, ebinaasigalangawo, era Mukama Katonda anaabimusonyiwanga.

13Bba anaayinzanga okukakasa oba okudibya obweyamo bwonna mukazi we bwʼanaabanga akoze nʼebisuubizo byonna byʼanaabanga yeerayiridde ebirimu nʼokwerumya nʼokwefiiriza.

14Naye bba bwʼataabengako ne kyabyogerako nga kyʼajje abiwulire, olwo omukazi anaabanga akakasizza obweyamo bwe bwonna nʼebisuubizo bye yeerayirira. Bba anaabikakasanga bwʼataabengako kyʼategeeza mukazi we bwʼanaabanga yaakamala okubiwulirako.

15Naye bwe wanaayitangawo ennaku ngʼamaze okubiwulirako, oluvannyuma nʼalyoka abidibya, yʼanaavunaanyizibwanga ku bitatuukiridde mu bweyamo bwʼomukazi oyo.”

16Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yalagira Musa aganaakwatanga ku musajja ne mukazi we, era ne kitaawe wʼomuwala ne muwala we anaabanga akyali omuvubuka ngʼakyasula mu nju ya kitaawe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>