Okubala 31:1-54 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Woolera eggwanga lyʼabaana ba Isirayiri ku Bamidiyaani, oluvannyuma olyoke ogende abantu bo bonna gye balaga.”

3Awo Musa nʼagamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani.

4Mu buli kika kya Isirayiri mujja kuggyamu abasajja lukumi abanaagenda okutabaala.”

5Awo ne baleeta okuva ku nkumi za Isirayiri abasajja lukumi okuva mu buli kika be balwanyi omutwalo gumu mu enkumi bbiri abeetegekera olutabaalo.

6Musa nʼabasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, nʼebintu byʼomu watukuvu nʼamakondeere agʼokulwana ngʼali nago.

7Ne batabaala Midiyaani nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa, ne batta buli musajja.

8Mu battibwa mwe mwagendera ne bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba. Balamu mutabani wa Byoli naye baamuttiramu nʼekitala.

9Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani nʼabaana baabwe, ne banyaga ente nʼebisibo byabwe nʼebintu ebirala bingi.

10Baayokya ebibuga byʼAbamidiyaani mwe baabeeranga, awamu nʼensiisira zaabwe zonna.

11Baatwala omunyago gwonna, nga mulimu nʼabantu nʼensolo;

12ne babireeta awali Musa ne Eriyazaali kabona nʼekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri mu lusiisira lwabwe olwali mu nsenyi za Mowaabu eziri ku mugga Yoludaani okutunuulira emitala wa Yeriko.

13Musa ne Eriyazaali kabona nʼabakulembeze mu kibiina bonna ne bagenda okusisinkana abatabaazi ebweru wʼolusiisira.

14Musa nʼanyiigira abakulembeze bʼeggye, abaduumizi bʼebikumi nʼabaduumizi bʼenkumi abaakomawo nga bava mu lutabaalo.

15Musa nʼababuuza nti, “Abakazi bonna temubasse?

16Mumanyi nga be baaleetera abaana ba Isirayiri okujeemera Mukama Katonda e Peoli bwe baakolera ku magezi Balamu ge yabawanga, kawumpuli amale alumbe ekibiina kya Mukama.

17Kale nno mutte buli mulenzi mu baana abato, era mutte na buli mukazi eyali yeegasseeko nʼomusajja.

18Naye abawala abato abatamanyanga musajja, mubeeterekere.

19“Musiisire ebweru wʼolusiisira okumala ennaku musanvu. Buli omu mu mmwe eyatta omuntu yenna, nʼoyo eyakwatako ku gwe basse, mwetukuze awamu nʼabanyage bammwe ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olwʼomusanvu.

20Mutukuze buli kyambalo ne buli kintu ekyakolebwa mu maliba, oba mu bwoya bwʼembuzi oba mu muti.”

21Awo Eriyazaali kabona nʼagamba abasajja abaatabaala nti, “Lino lye tteeka Mukama Katonda lyʼalagidde Musa:

22Zaabu, ne ffeeza, nʼekikomo, nʼekyuma, nʼebbaati, nʼessasi

23nʼekirala kyonna ekigumira omuliro mukiyise mu muliro kiryoke kibeere ekirongoofu. Naye era kisaana okulongoosebwa nʼamazzi agalongoosa. Ebyo byonna ebitaasobole kuyita mu muliro biyisibwe mu mazzi ago.

24Ku lunaku olwʼomusanvu mwozanga engoye zammwe, mulyoke mubeere abalongoofu. Ebyo nga biwedde mulyoke muyingire mu lusiisira.”

25Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

26“Ggwe ne Eriyazaali kabona, nʼabakulembeze bʼempya ezʼomu kibiina mubale obungi bwʼomunyago ogwaleetebwa omuli abantu nʼebisolo.

27Omunyago gugabanyeemu mu bitundu bibiri: ekyʼabatabaazi abaalwana olutalo nʼekyabaasigala mu kibiina.

28Munaggya ku basajja abaatabaala ekitundu kimu ku buli bikumi bitaano, nga gwe musolo gwa Mukama Katonda, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi.

29Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda.

30Ku munyago gwʼabaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.”

31Bwe batyo Musa ne Eriyazaali bwe baakola, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

32Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000).

33Ente, emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000).

34Endogoyi, emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000),

35nʼabakazi abatamanyangako basajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).

36Ekitundu ekyʼomu makkati ekyʼomunyago ekyʼabo abaatabaala kyali bwe kiti: Endiga, obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500);

37ku ezo kwaliko ezʼomusolo gwa Mukama Katonda lukaaga mu nsavu mu ttaano (675).

38Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), ngʼezʼomusolo gwa Mukama Katonda nsanvu mu bbiri (72).

38

39Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500), ngʼezʼomusolo gwa Mukama Katonda zaali nkaaga mu emu (61).

39

40Abantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000); ngʼabʼomusolo gwa Mukama Katonda baali amakumi asatu mu babiri (32).

41Omusolo gwa Mukama, Musa nʼaguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

42Ekitundu ekyʼomu makkati ekyʼomunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogwʼabatabaazi abaalwana mu lutalo,

43ekitundu ekyo kyali bwe kiti: Endiga, emitwalo asatu mu esatu mu bitaano (337,500);

44Ente, emitwalo esatu mu kakaaga (36,000);

45Endogoyi, emitwalo esatu mu bitaano (30,500);

46nʼabantu omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).

47Ekitundu ekyʼomugabo ekyʼabaana ba Isirayiri, Musa nʼaggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi ebyʼabantu nʼebyʼebisolo, nʼabiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

48Awo abakulembeze bʼebibinja mu ggye abaaduumiranga ebikumi nʼabaaduumiranga enkumi, ne bajja eri Musa,

49ne bamugamba nti, “Abaweereza bo tubaze abatabaazi bonna be tutwala, nga tewaliiwo nʼomu abulawo.

50Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo ebyʼoku mikono, emikuufu egyʼoku magulu, empeta zʼoku ngalo nʼempeta ezʼomu matu nʼobutiiti obwʼomu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”

51Musa ne Eriyazaali kabona, ne bakkiriza ebyaleetebwa omwali zaabu nʼebyomuwendo ebirala byonna.

52Zaabu yenna abaduumizi bʼenkumi, nʼabaduumizi bʼebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda.

53Buli mutabaazi yali yeenyagiddeyo ebintu ebibye ku bubwe.

54Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne baddira zaabu eyaleetebwa abaduumizi bʼenkumi nʼabaduumizi bʼebikumi, ne bamuleeta mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, okubeeranga ekijjukizo eri abaana ba Isirayiri mu maaso ga Mukama Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>