1Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana gʼente nʼebisibo byʼendiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri nʼensi ya Gireyaadi, ne balaba ngʼekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe.
2Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, nʼeri abakulembeze bʼekibiina ne babagamba nti,
3“Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni,
4bye bitundu byʼensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso gʼabaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ngʼabaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.”
5Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu byʼensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
6Musa nʼagamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano?
7Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gyʼabawadde?
8Ne bakadde bammwe bwe baakola bwe nabatuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi.
9Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gyʼabaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde.
10Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku olwo, nʼalayira nti,
11‘Olwʼokubanga tebaŋŋondedde nʼomutima gwabwe gwonna, tewalibaawo nʼomu ku basajja abʼemyaka okuva ku myaka makumi abiri okweyongerayo egyʼobukulu, abaasimbuka okuva mu Misiri, aliraba ku nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo;
12tewalibaawo nʼomu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi
13Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, nʼabatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gwʼabo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
14“Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani bʼabakozi bʼebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri!
15Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola byʼayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
16Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo ebyʼebisibo byʼebisolo byaffe, tuzimbe nʼebigo ebyʼabaana baffe abato.
17Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu.
18Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ngʼabaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe.
19Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani nʼokweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
20Awo Musa nʼabagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo,
21ne musomoka Yoludaani nʼebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ngʼagobye abalabe be mu maaso ge,
22nʼensi ngʼewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama nʼeri Isirayiri. Ekitundu kyʼensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
23“Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ngʼekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa.
24Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga ebyʼebigo ebinywevu, nʼebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole nʼebyo bye musuubizza.”
25Abaana ba Gaadi nʼabaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bwʼotulagidde.
26Abaana baffe abato ne bakazi baffe, nʼebisibo byaffe ebyʼendiga nʼebiraalo byaffe ebyʼente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi.
27Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bwʼogambye.”
28Awo Musa nʼabawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, nʼeri Yoswa mutabani wa Nuuni, nʼeri abakulembeze bʼempya ezʼomu bika byʼabaana ba Isirayiri.
29Musa nʼagamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, nʼensi eri mu maaso gammwe nʼewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gwʼobutaka bwabwe.
30Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe ebyʼobutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
31Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga Mukama bwʼatugambye.
32Tujja kusomokera mu maaso ga Mukama Katonda tuyingire mu nsi ya Kanani nga twesibye ebyokulwanyisa, naye omugabo gwaffe ogwʼobutaka bwaffe gujja kusigala ku ludda luno olwa Yoludaani.”
33Awo Musa nʼabagabira, abaana ba Gaadi nʼabaana ba Lewubeeni, nʼekitundu kyʼekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka wʼAbamoli, nʼobwakabaka bwa Ogi kabaka wʼe Basani, nʼabawa ensi nʼebibuga byamu, nʼamatwale gaayo nʼebibuga byamu ebigyetoolodde.
34Batabani ba Gaadi ne bazimba ebibuga bino: Diboni, ne Atalosi, ne Aloweri,
35ne Aterosi Sofani, ne Yazeri, ne Yogubeka;
36ne Besu Nimira, ne Besu Kalaani, nga bye bibuga ebiriko ebigo ebinywevu, ne bakola nʼebisibo byʼebisolo byabwe.
37Batabani ba Lewubeeni ne bazimba ebibuga bino: Kesuboni, ne Ereale, ne Kiriyasayimu,
38ne Nebo, ne Baalu Myoni (amannya gaabyo gaakyusibwa), ne Sibima. Ebibuga bye baddaabiriza baabituuma amannya malala.
39Abaana ba Makiri, mutabani wa Manase, ne bagenda e Gireyaadi, ensi eyo ne bagiwamba, ne bagobamu Abamoli abaagibeerangamu.
40Bwʼatyo Musa nʼawa Gireyaadi, Makiri mutabani wa Manase, nʼatuula omwo.
41Yayiri mutabani wa Manase nʼagenda ne yeetwalira obubuga obutonotono, nʼabutuuma Kavosu Yayiri.
42Ne Noba naye nʼawamba Kenasi nʼobwalo obukyetoolodde, nʼakituuma Noba erinnya lye.