Okubala 34:1-29 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Lagira abaana ba Isirayiri ngʼobagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe eyʼobutaka bwammwe obwʼenkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:

3“‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini nʼekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lwʼebuvanjuba, ensalo yammwe eyʼoku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja eyʼOmunnyo wʼekoma ku luuyi olwʼebuvanjuba,

4nʼeyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, nʼeraga ku Zini nʼekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali nʼetuuka e Yazimoni,

5awo wʼeriwetera nʼegenda ku mugga Wadi ogwʼe Misiri nʼekoma ku Nnyanja Ennene.

6“‘Ku ludda olwʼebugwanjuba, olubalama lwʼEnnyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo yʼeriba ensalo yammwe eyʼebugwanjuba.

7“ ‘Ku ludda olwʼobukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola;

8eve e Koola erage wʼoyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada,

9ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, nʼekoma mu Kazale Naani. Eyo yʼeriba ensalo yammwe eyʼoku bukiikakkono.

10“ ‘Ensalo yammwe eyʼebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazale Naani okutuuka e Sefamu.

11Ensalo nʼeserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olwʼebuvanjuba bwa Yaini, nʼebalama amabbali gʼensozi ku ludda olwʼebuvanjuba bwʼEnnyanja yʼe Kinneresi, yʼeyʼe Ggaliraaya.

12Olwo ensalo nʼegendera ku mugga Yoludaani nʼekoma ku Nnyanja eyʼOmunnyo.

12“ ‘Eyo yʼeribeera ensi yammwe, nʼezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”

13Awo Musa nʼalagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obwʼenkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda nʼekitundu,

14kubanga abʼempya zʼekika kya Gaadi nʼekya Lewubeeni, nʼabʼempya zʼekitundu kyʼekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe.

15Ebika ebyo ebibiri nʼekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olwʼebuvanjuba olwʼOmugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gyʼeva.”

16Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

17“Gano ge mannya gʼabasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni.

18Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.

19Gano ge mannya gaabwe: ngʼava mu kika kya Yuda.

19Kalebu mutabani wa Yefune

20Semweri mutabani wa Ammikudi

20ngʼava mu kika kya Simyoni.

21Eridaadi mutabani wa Kisuloni

21ngʼava mu kika kya Benyamini.

22Buki mutabani wa Yoguli

22ngʼava mu kika kya Ddaani.

23Kanieri mutabani wa Efodi

23ngʼava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.

24Kemueri mutabani wa Sifutani

24ngʼava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.

25Erizafani mutabani wa Palunaki

25nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.

26Palutieri mutabani wa Azani

26nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,

27ne Akikuda mutabani wa Seromi

27nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,

28ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi

28nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”

29Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bwʼabaana ba Isirayiri.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>