Okubala 35:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Lagira abaana ba Isirayiri nti Bawanga Abaleevi ebibuga ebyʼokubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obwʼenkalakkalira. Era babaweerangako nʼamalundiro okwetooloola ebibuga ebyo.

3Kale, olwo balibeera nʼebibuga ebyokusulangamu, nʼamalundiro agʼente zaabwe nʼendiga zaabwe, awamu nʼensolo zaabwe endala ezirundibwa.

4“Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi abʼomu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe wʼekibuga mita ebikumi bina mu ataano.

5Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olwʼebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olwʼebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olwʼobukiikakkono, nʼemita lwenda ku luuyi olwʼobukiikaddyo, ngʼekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo abʼomu kibuga.”

6“Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga ebyʼokuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri.

7Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko nʼamalundiro.

8Omuwendo gwʼebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene nʼobutono obwa buli busika obwʼabaana ba Isirayiri. Abʼobusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, nʼabʼobusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”

9Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

10“Yogera eri abaana ba Isirayiri ngʼobagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi yʼe Kanani,

11mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe ebyʼokuddukirangamu; ngʼomwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mwʼanaddukiranga.

12Bye binaabanga ebifo ebyʼobuddukiro okwewala omuwoolezi wʼeggwanga[19], omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso gʼekibiina.

13Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe ebyʼobuddukiro.

14Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwʼebuvanjuba olwa Yoludaani, nʼebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga ebyʼobuddukiro.

15Abaana ba Isirayiri nʼabagenyi bammwe, nʼabagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’

16“ ‘Omuntu bwʼanaakubanga omuntu nʼekyuma nʼamutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.

17Era omuntu bwʼanaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, nʼakuba munne nʼejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala.

18Oba omuntu bwʼanaabanga akutte ekyokulwanyisa ekyʼomuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, nʼakikubisa munne, munne nʼafa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.

19Omuwoolezi wʼeggwanga yennyini yʼanattanga omutemu; bwʼanaamusisinkananga anaamuttanga.

20Omuntu bwʼanaabangako ekiruyi ku munne nʼamufumita ngʼakigenderedde, olwʼobukyayi, oba nʼamwekwekerera nʼamukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta,

21oba olwʼobulabe bwʼamulinako nʼamukuba ekikonde, munne nʼafa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi wʼeggwanga yʼanattanga omutemu oyo ngʼamusisinkanye.’ ”

22“ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gwʼatalinaako bulabe, oba nʼakasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba,

23oba nʼayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, nʼafa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya;

24kale, olukiiko lwʼekibiina lunaasalangawo wakati we nʼomuwoolezi wʼeggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali.

25Omussi oyo olukiiko lwʼekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi wʼeggwanga, ne lumuleka nʼabeeranga mu kibuga kye ekyʼobuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni amatukuvu ngʼamaze okufa.’ ”

26“ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga nʼafulumako mu kibuga kye ekyʼobuddukiro mwe yaddukira,

27omuwoolezi wʼeggwanga nʼamala amusanga ebweru wʼekibuga ekyo, nʼamutta, omuwoolezi wʼeggwanga taabengako musango gwa butemu.

28Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye ekyʼobuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo nʼaddayo ewuwe mu bintu bye ebyʼobutaka.’ ”

29“ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga.

30Omuntu bwʼanattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obwʼomuntu omu yekka.’ ”

31“ ‘Temukkirizanga mutango olwʼokununula omussi asingiddwa omusango ogwʼobutemu nʼasalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.’ ”

32“ ‘Temukkirizanga mutango ogwʼokununula omussi abeera mu kibuga ekyʼobuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.’ ”

33“ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ngʼetangiririrwa nʼomusaayi gwʼoyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo.

34Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>