1Awo abakulembeze bʼennyumba zʼempya ezʼomu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa nʼabakulembeze nʼabazadde bʼabaana ba Isirayiri.
2Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka eryʼobusika bwabwe ngʼokuba akalulu, era nʼakulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala.
3Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala ebyʼabaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku byʼobusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku byʼobusika obwʼebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako.
4Awo Omwaka gwa Jjubiri ogwʼabaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bwʼebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, nʼebyʼobutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obwʼensikirano.”
5Awo Musa nʼaddamu abantu ngʼekiragiro kya Mukama bwe kyali nʼalagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani abʼomu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu.
6Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga zʼabawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe.
7Mu byʼobusika bwʼabaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obwʼobusika obunaggyibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obwʼomu kika kye bwʼanaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe.
8Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja owʼomu kika kya kitaawe wʼomuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga nʼobutaka obwʼobusika bwa bakitaawe.
9Noolwekyo tewaabengawo butaka obwʼobusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika ekyʼabaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bwʼobusika obwʼekika ekyo.”
10Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
11Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe.
12Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.
13Ago ge mateeka nʼebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa nʼabituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.