Okubala 4:1-49 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,

2“Mubale batabani ba Kokasi abava mu kika kyʼAbaleevi, ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe ziri.

3Mubabale nga muva ku basajja abʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obwʼokukola emirimu mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

4“Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo.

5Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ya Mukama, ne batimbulula eggigi eryʼolutimbe ne balibikka ku Ssanduuko eyʼEndagaano.

6Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.

7“Ku mmeeza eyʼEmigaati egyʼOkulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, nʼebijiiko ebinene, nʼamabakuli, nʼejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; nʼemigaati egyʼokulaga nagyo ginaabeeranga okwo.

8Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.

9“Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo kyʼettaala kwe zinaayakiranga, nʼettabaaza zaako, nʼebikomola entambi nʼensuniya ezʼebisirinza, nʼejaagi ezʼamafuta agʼomuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo.

10Ekikondo nʼebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro.

11“Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.

12“Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gyʼobuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo.

13Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu;

14ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gyʼoku kyoto, nga mwe muli ensiniya ezʼomuliro, nʼewuuma, nʼebijiiko nʼebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.

15“Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga nʼekiseera kyʼolusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu ebyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.

16“Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, yʼanaabeeranga nʼobuvunaanyizibwa obwʼamafuta gʼettaala agʼomuzeeyituuni, nʼobubaane obwakaloosa, nʼekiweebwayo ekyʼokulaga ekyʼemmere eyʼempeke, nʼamafuta agʼomuzeeyituuni agʼokwawula. Era yʼanaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, nʼawatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”

17Mukama Katonda nʼagamba Musa ne Alooni nti,

18“Mwegendereze abʼomu mpya zʼennyumba zʼAbakokasi baleme okukutulwa ku kika kyʼAbaleevi.

19Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe nʼebyo byʼaneetikkanga.

20Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde nʼeddakiika emu, balemenga okufa.”

21Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

22“Bala ne batabani ba Gerusoni ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe ziri.

23Babale ngʼotandikira ku basajja abʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obwʼokukola emirimu egya Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

24“Gino gye mirimu eginaakolebwanga abʼomu mpya zʼAbagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu:

25Baneetikkanga entimbe ezʼomu Weema ya Mukama, yʼEweema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nʼebigibikkako, nʼamaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, nʼentimbe ezʼomu mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,

26nʼentimbe ezʼomu luggya olwebungulula Weema ya Mukama nʼekyoto, nʼolutimbe lwʼomulyango gwʼoluggya, nʼemiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo.

27Mu kuweereza kwonna okwʼAbagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egyʼengeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga.

28Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.

29“Batabani ba Merali nabo babale ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe ziri.

30Babale ngʼotandikira ku basajja abʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obwʼokukola emirimu egya Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

31Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu: Okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, nʼembaawo zaayo, nʼempagi nʼebibya mwe zituula,

32awamu nʼempagi ezeebungulula oluggya nʼebibya byazo mwe zituula, nʼenkondo zʼeweema, nʼemiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya gʼebintu byennyini byʼajjanga okwetikka.

33Egyo gye ginaabanga emirimu gyʼomu mpya zʼabaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”

34Awo Musa ne Alooni nʼabakulembeze bʼabantu ne babala batabani bʼAbakokasi ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe zaali.

35Ne bababala nga batandikira ku basajja abʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,

36nga bababala ngʼempya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750).

37Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwʼabo abaali mu mpya zʼAbakokasi abaaweerezanga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.

38Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ngʼempya zaabwe bwe zaali nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe zaali.

39Abasajja bonna okuva ku bʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,

40baabalibwa ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630).

41Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

42Batabani ba Merali baabalibwa ngʼempya zaabwe nʼennyumba zʼabakadde baabwe bwe zaali.

43Abasajja bonna okuva ku bʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,

44abaabalibwa ngʼempya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200).

45Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogwʼomu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

46Bwe batyo Musa ne Alooni nʼabakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba zʼabakadde baabwe.

47Abasajja bonna okuva ku bʼemyaka amakumi asatu egyʼobukulu okutuuka ku bʼemyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu,

48abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580).

49Buli musajja yaweebwa omulimu ogwʼokukola nʼategeezebwa kyʼaneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>