1Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
2“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru wʼolusiisira, na buli alina ekikulukuto kyʼomusaayi, nʼoyo anaabanga akutte ku mufu.
3Abasajja nʼabakazi bonna babafulumyenga ebweru wʼolusiisira baleme okulufuula olutali lulongoofu, kubanga omwo mwe mbeera.”
4Awo abaana ba Isirayiri ne bakolanga bwe batyo ne babafulumyanga ebweru wʼolusiisira. Ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
5
6“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Omuntu yenna omusajja oba omukazi bwʼanaasobyanga eri munne mu ngeri yonna, bwʼatyo anaabanga asobezza eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaabangako omusango,
7era asaana ayatule ekibi ekyo kyʼanaabanga akoze. Anaaliwanga mu bujjuvu olwʼekibi ekyo kyʼanaabanga akoze, nʼagattako nʼekitundu ekimu ekyokutaano ekyʼebyo byʼanaabanga aliye, byonna anaabiwanga oyo gwʼanaabanga azizzaako omusango.
8Naye singa omuntu oyo azzibbwako omusango taabengawo na waaluganda lwa kumpi, ebyʼokuliwa ebyo binaabanga bya Mukama Katonda era nʼendiga ennume eyʼokutangiririra oyo eyazza omusango, binaaweebwanga kabona.
9Era ebirabo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga eri kabona binaabanga bya kabona oyo.
10Ekirabo kya buli muntu ekitukuvu kinaabanga kikye, naye ekyo kyʼanaaleeteranga kabona kinaabanga kya kabona.’ ”
11Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
12“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Muka omusajja yenna bwʼanaakyamanga nʼakola ebitali bya bwesigwa eri bba
13ne yeebaka nʼomusajja omulala nga bba tategedde, omusajja oyo nʼamusobyako, ekikolwa ekyo ne kitamanyibwa, kubanga tewali mujulizi akirabye era nga tebabakutte nga bakikola;
14singa omusajja akwatibwa ebbuba nʼateebereza nti osanga mukazi we baamusobezzaako, oba ebbuba ne limukwata newaakubadde nga mukazi we tebaamusobezzaako,
15kale anaaleetanga mukazi we eri kabona. Anaaleetanga nʼekyokuwaayo ku lwa mukazi we ekitundu kimu ekyʼekkumi ekya efa
16“Kabona anaasembezanga omukazi oyo nʼamuleeta nʼamuyimiriza mu maaso ga Mukama Katonda.
17Anaddiranga amazzi amatukuvu
18Kabona bwʼanaamalanga okuyimiriza omukazi oyo mu maaso ga Mukama Katonda, anaamusumululanga enviiri ze nʼazita ne zikka, nʼamukwasa ekiweebwayo ekyʼokujjukiza ekyʼemmere yʼempeke ekiweereddwayo olwʼobuggya, ye kabona ngʼakutte amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
19Kabona anaalayizanga omukazi oyo nʼamugamba bwʼati nti, ‘Obanga tewali musajja yenna eyeebase naawe mu kyama nʼofuuka atali mulongoofu songa oli mu bufumbo ewa balo, amazzi agakaawa gano agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi.’
20Naye bwʼonoowabanga ne weebaka nʼomusajja atali balo, bwʼotyo ne weeyonoonyesa,
21wano kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro ekyʼekikolimo nʼamugamba nti, ‘Mukama Katonda aleetere abantu bo okukukolimira nʼokukuboola bwʼanaakoozimbyanga ekisambi kyo nʼolubuto lwo nʼaluleetera entumbi ne luzimba.
22Amazzi gano agaleeta ekikolimo gayingirenga mu mubiri gwo gazimbye olubuto lwo era nʼekisambi kyo kikoozimbe.’ ”
23“ ‘Kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo ku muzingo nʼabyozaako mu mazzi agakaawa.
24Anaanywesanga omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo, era amazzi ago ganaayingiranga mu mukazi oyo ne gamuleetera obulumi nʼokubonaabona mu mubiri.
25Awo kabona anaggyangako omukazi oyo ekiweebwayo ekyʼempeke olwʼobuggya, anaawuubanga ekiweebwayo ekyo ekyʼempeke mu maaso ga Mukama Katonda, nʼakireeta ku kyoto.
26Kabona anaddiranga olubatu lwʼobuwunga obwʼekiweebwayo ngʼekiweebwayo olwʼokujjukira nʼakyokya ku kyoto; ebyo nga biwedde anaanywesanga omukazi amazzi gali.
27Bwʼanaamalanga okumunywesa amazzi ago, kale bwʼanaabanga yeeyonoonyesezza nga tabadde mwesigwa eri bba, amazzi ago agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu mubiri gwʼomukazi oyo ne gamuleetera obulumi obubalagala; olubuto lwe lunaazimbulukukanga nʼekisambi kye ne kikoozimba, era anaafuukanga omukolimire mu bantu be waabwe.
28Naye omukazi oyo bwʼanaabanga teyeeyonoonyesa nga mulongoofu, kale taabeerengako musango, era anaabanga wa ddembe okuzaala abaana.’
29“ ‘Eryo lye tteeka eryʼobuggya, omukazi bwʼanaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba,
30oba omusajja bwʼanaayingirangamu omwoyo ogwʼebbuba, nʼakwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona nʼalyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo.
31Balo taabengako kyonoono ku nsonga ezo wabula mukazi we yʼanaabangako omusango olwʼokwonoona kwe.’ ”