Okubala 6:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bwʼanaabanga ayagala okukola obweyamo obwʼenjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ngʼOmunazaalayiti[8],

3 anaateekwanga obutanywa wayini nʼekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga wayini mukaatuufu wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo.

4Ebbanga lyonna lyʼanaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta.

5“Ebbanga lyonna lyʼanaamalanga ngʼali mu bweyamo bwe obwo, kirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye ekyʼokweyawula nga kiweddeko; era enviiri ezʼoku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa.

6Ebbanga lyonna lyʼanaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri Mukama Katonda, taasembererenga muntu afudde.

7Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero akʼobweyamo obwʼokweyawula eri Mukama kanaabanga kali ku mutwe gwe.

8Okumala ebbanga lyonna eryʼobweyamo bwe obwʼokweyawula, anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda.

9“Omuntu bwʼanaafanga ekikutuko ngʼaliraanye omuwonge oyo, bwʼatyo nʼafuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olwʼokwerongoosa, lwe lunaku olwʼomusanvu.

10Ku lunaku olwʼomunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

11Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ngʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼekyokubiri ngʼekiweebwayo ekyokebwa olwʼokumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kwʼanaatukulizangako omutwe gwe.

12Aneewangayo eri Mukama Katonda okumala ebbanga lyonna eryʼobweyamo bwe obwʼokweyawula, era anaaleetanga omwana gwʼendiga omulume nʼaguwaayo ngʼekiweebwayo olwʼokusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga eryʼobweyamo bwe obwʼokweyawula.

13 “Lino lyʼetteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye eryʼobweyamo obwʼokweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu.

14Anaawangayo ebirabo bye ebyʼebiweebwayo eri Mukama Katonda, bye bino: omwana gwʼendiga omulume ogwʼomwaka ogumu ogwʼobukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gwʼekiweebwayo ekyokebwa; nʼomwana gwʼendiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gwʼekiweebwayo olwʼekibi; nʼendiga ennume etaliiko kamogo nga ye yʼekiweebwayo olwʼemirembe;

15nʼekibbo kyʼemigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu nʼamafuta agʼomuzeeyituuni agafumba; nʼobusukuuti obwʼoluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta agʼomuzeeyituuni, nʼebiweebwayo ebyʼemmere yʼempeke nʼebiweebwayo ebyʼebyokunywa.

16“Kabona anaabireetanga awali Mukama Katonda, nʼawaayo ekiweebwayo kye olwʼekibi nʼekiweebwayo kye ekyokebwa.

17Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka eyʼekiweebwayo olwʼemirembe eri Mukama Katonda awamu nʼekibbo kyʼemigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke nʼekiweebwayo ekyʼebyokunywa.

18“Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogwʼobuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogwʼobuwonge bwe nʼazissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka eyʼekiweebwayo olwʼemirembe.

19“Omunnazaalayiti bwʼanaamalanga okumwa omutwe gwe ogwʼobuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gwʼendiga omufumbe, nʼaggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, nʼakasukuuti akʼoluwewere akatali kazimbulukuse kamu, nʼabimukwasa mu ngalo ze.

20Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu nʼekifuba ekiwuubibwa nʼekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa wayini.

21“Eryo lye tteeka eryʼOmunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri Mukama Katonda ngʼobweyamo bwe obwʼokweyawula bwe bunaabanga, ngʼagasseeko nʼebirala nga bwʼanaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ngʼetteeka lyʼOmunnazaalayiti bwe liragira.”

22Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

23“Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti:

24‘Mukama Katonda akuwe omukisa, akukuume;

25Mukama Katonda akwakize amaaso ge akukwatirwe ekisa;

26Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge akuwe emirembe.’ ”

27“Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>