1Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya Mukama, nʼagifukako amafuta agʼomuzeeyituuni nʼagitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era nʼafuka amafuta agʼomuzeeyituuni ku kyoto nʼakitukuza nʼebintu byakyo byonna.
2Abakulembeze ba Isirayiri, abakulu bʼempya za bakitaabwe era nga be bakulembeze bʼebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe.
3Baaleeta ebirabo byabwe ebyʼebiweebwayo eri Mukama Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga nʼente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya Mukama.
4Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
5“Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gyʼomu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.”
6Bwʼatyo Musa nʼaddira amagaali nʼente nʼabiwa Abaleevi.
7Amagaali abiri nʼente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ngʼemirimu gyabwe bwe gyali,
8nʼaddira amagaali ana nʼente munaana nʼabiwa batabani ba Merali, ngʼemirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona.
9Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe.
10Bwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso gʼekyoto olwʼokukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni.
11Mukama nʼagamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olwʼokutukuza ekyoto.”
12Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu owʼomu kika kya Yuda.
13Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza, ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza ekyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani nʼekibya, nga bipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
14nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
15ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
16embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
17era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
18Ku lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
19Ekirabo kye yaleeta yali sowaani eya ffeeza ngʼepima obuzito bwa kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
20nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
21ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
22embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
23era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
24Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze wʼabantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye.
25Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
26nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
27ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
28embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
29era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30Ku lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze wʼabantu ba Lewubeeni, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
31Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
32nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
33ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
34embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
35era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36Ku lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze wʼabantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye.
37Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
38nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
39ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
40embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
41era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42Ku lunaku olwʼomukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze wʼabantu ba Gaadi, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
43Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
44nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
45ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
46embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
47era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48Ku lunaku olwʼomusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze wʼabantu ba Efulayimu, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
49Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya kya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
50nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
51ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
52embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
53era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54Ku lunaku olwʼomunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze wʼabantu ba Manase, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
55Ekiweebwayo kye yali esowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
56nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
57ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
58embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
59era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
60Ku lunaku olwʼomwenda Abidani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze wʼabantu ba Benyamini, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
61Ekiweebwayo kye yali sowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
62nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
63ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
64embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
65era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni.
66Ku lunaku olwʼekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze wʼabantu ba Ddaani, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
67Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
68nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
69ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
70embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
71era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72Ku lunaku olwʼekkumi nʼolumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze wʼabantu ba Aseri, nʼaleeta ekiweebwayo kye.
73Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
74nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa;
75ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
76embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
77era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani.
78Ku lunaku olwʼekkumi nʼebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze wʼabantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye.
79Ekiweebwayo kye yali essowaani emu eya ffeeza ngʼobuzito epima kilo emu nʼekitundu, nʼekibya ekya ffeeza omubeera ebyʼokumansira ngʼobuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta agʼomuzeeyituuni obwʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke;
80nʼekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ngʼobuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa;
81ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, nʼomwana gwʼendiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogwʼobukulu, olwʼekiweebwayo ekyokebwa;
82embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olwʼekibi;
83era olwa ssaddaaka eyʼebiweebwayo olwʼemirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, nʼabaana bʼendiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogwʼobukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani.
84Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olwʼokutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera ebyʼokumansira kkumi na bibiri, nʼebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri.
85Buli sowaani eya ffeeza ngʼepima obuzito bwa kilo emu nʼekitundu, na buli kibya omubeera ebyʼokumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bwʼessowaani ezo zonna nʼobwʼebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe byali.
86Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi nʼebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ngʼebipimo byʼawatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya:
87Omuwendo gwonna ogwʼebisolo ebyaweebwayo olwʼekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana bʼendiga abato abalume abʼomwaka ogwʼobukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu nʼekiweebwayo ekyʼemmere yʼempeke nʼebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olwʼekiweebwayo olwʼekibi.
88Omuwendo gwonna ogwʼebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka yʼekiweebwayo olwʼemirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga nʼabaana bʼendiga abato abalume abʼomwaka ogwʼobukulu ogumu ogumu nabo nkaaga. Ebyo bye byali ebiweebwayo olwʼokutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta agʼomuzeeyituuni.
89Awo Musa bwe yayingira mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, nʼawulira eddoboozi nga lyogera gyʼali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu wʼentebe eyʼokusaasira eri ku Ssanduuko eyʼEndagaano. Ne lyogera naye.