Okubala 8:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

2“Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bwʼoba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso gʼekikondo kyʼettaala.’ ”

3Alooni nʼakola bwʼatyo; nʼakoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso gʼekikondo kyʼettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

4Ekikondo kyʼettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo kyʼettaala kyakolebwa ngʼekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.

5Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

6“Ggyamu Abaleevi mu baana ba Isirayiri, obafuule balongoofu.

7Okubafuula abalongoofu ojja kukola bwʼoti: bamansireko amazzi agʼobulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze nʼengoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu.

8Balagire baweeyo ente ya sseddume ento nʼekiweebwayo ekigenderako ekyʼobuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta agʼomuzeeyituuni; nʼoluvannyuma naawe oddire ente ya sseddume ento ogiweeyo olwʼekiweebwayo olwʼekibi.

9Abaleevi obaleete mu maaso ga Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, era okuŋŋaanyize awo ekibiina kyʼabaana ba Isirayiri bonna.

10Onooleeta Abaleevi mu maaso ga Mukama, era abaana ba Isirayiri bajja kussa emikono gyabwe ku Baleevi abo.

11Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ngʼekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.

12“Abaleevi banassa emikono gyabwe ku mitwe gyʼente zisseddume zombi; emu onoogiwaayo ngʼekiweebwayo olwʼekibi, nʼendala ngʼekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, okutangiririra Abaleevi.

13Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ngʼekiweebwayo ekiwuubibwa.

14“Bwʼotyo bwʼonooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isirayiri, era Abaleevi banaabanga bange.

15“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ngʼomaze okubafuula abalongoofu era ngʼobawaddeyo ngʼekiweebwayo ekiwuubibwa.

16Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo kyʼababereberye, ekyʼabaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri.

17Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna ebyʼomu nsi yʼe Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange.

18Kaakano ntutte Abaleevi mu kifo kyʼababereberye mu baana ba Isirayiri.

19Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ngʼekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”

20Bwe batyo Musa ne Alooni nʼekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.

21Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni nʼabawaayo ngʼekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nʼabatangiririra okubafuula abalongoofu.

22Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

23Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,

24“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja abʼemyaka amakumi abiri mu etaano egyʼobukulu nʼokusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu;

25naye bwe banaawezanga emyaka egyʼobukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza.

26Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama eyʼOkukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bwʼotyo bwʼonootegekanga emirimu gyʼAbaleevi.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>