1Awo Mukama nʼayogera ne Musa mu Ddungu lya Sinaayi mu mwezi ogwʼolubereberye ogwʼomwaka ogwokubiri kasookedde bava mu nsi yʼe Misiri. Nʼamugamba nti,
2“Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga eyʼOkuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa.
3Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi guno nga buwungeera, ngʼamateeka nʼebiragiro byako bwe bigamba.”
4Bwʼatyo Musa nʼagamba abaana ba Isirayiri okukwata Embaga eyʼOkuyitako;
5era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olwʼekkumi nʼennya olwʼomwezi ogwʼolubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
6Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga eyʼOkuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini,
7ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu nʼabaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”
8Musa nʼabaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda kyʼanandagira ku nsonga yammwe.”
9Awo Mukama Katonda nʼagamba Musa nti,
10“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe abʼomu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olwʼokukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olwʼewala, anaakwatanga Embaga eyʼOkuyitako eya Mukama Katonda.
11Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olwʼekkumi nʼennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gwʼendiga banaagulyanga nʼomugaati ogutali muzimbulukuse nʼenva ezʼebikoola ebikaawa.
12Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga eyʼOkuyitako kinaabasaaniranga okukola ngʼamateeka gʼembaga eyo bwe galagira.
13Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka nʼatakwata Mbaga eyʼOkuyitako, anaawaŋŋangusibwanga nʼava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi kyʼomuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe.
14“ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bwʼanaabanga ayagala okukwata Embaga eyʼOkuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ngʼagoberera amateeka nʼebiragiro byayo. Munaabanga nʼebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ”
15Ku lunaku Weema ya Mukama eyʼEndagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ngʼomuliro.
16Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ngʼomuliro.
17
18Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe.
19Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula.
20Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ngʼekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ngʼekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga.
21Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ngʼolwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku nʼekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ngʼolwo basitula okutambula.
22Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ngʼolwo basitula okutambula.
23Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa.